TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakungubazi bakutte ssanduuke eyaguliddwa Abalokole ne bagyokya

Abakungubazi bakutte ssanduuke eyaguliddwa Abalokole ne bagyokya

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2018

ABAKUNGUBAZI bakutte sanduuko eyaguliddwa abalokole okuziikamu omugenzi ne bagikumako omuliro nti olumbe olwamusse lwavudde ku bbo.

Katale 703x422

Esanduuko gye baakumyeko omuliro n'ebengeya yonna.

Bagamba sanduuko yabaddemu akagoye akaliko omusaayi nga kino kiraga nti, okussaamu akagoye kano baabadde baliko bye baagala okuwugula ne bagaana okugimuziikamu.

Ab’ekika baasonze ssente ne bagula sanduuko gye bagambye etaliiko ddogo era mwe baamuziise era ne balemesa n’abalokole omugenzi gy'abadde asabira okubeera mu lumbe wadde okulinnya emagombe. Era oluvudde e Magombe sanduuko abalokole gye baabadde baleese ne bagikumako omuliro n'ebengeya.

Bino bibadde mu kuziika omugenzi David Batongole mutabani wa Joseph Batongole 'Nsolo' ku kyalo Sagazi e Divizoni y'e Kawolo mu Munisipaali y'e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe.

Omugenzi Batongole yava ku kyalo kino emyaka egiwerako n’agenda e Bweyogerere ng'avuga takisi gye yasinziira okwegatta ku kkanisa ya Paasita Nyanzi eyitibwa Seeta Victory Church.

Kitaawe w'omugenzi Joseph Batongole 'Nsolo' alumiriza nti mutabani we ab’ekkanisa baali baamubakyaya nga baamuteekamu omutima gw'obukyayi ne yeekutula ku b'awaka nga ne bwe baba bafiiriddwa talinnyayo nga ne gye buvuddeko katono waliwo muganda we eyafa teyagenda kuziika.

alt=''

 

Agambye nti, emirundi gy'amukubidde essimu ng'amubuuza lwaki tamulambulako ng'amugamba nti, yaweebwa emyaka esatu okusoma obwapaasita nga mu kiseera kino kyonna talina kuva ku bya Katonda kudda ku bya famire.

Era nti abadde atera okumusaba okumuwaayo ku ssente nga bw'amuyita azimuwe nga tayagala ayagala azimuteere ku 'Mobile Money' era ng'akyogera kaati nti, ekyo bwe baba tebasobola kukikola bakiveeko alifuna ssente ng'omusumba bwe yamusuubiza.

Batongole yayongedde nti, ne maama we yennyini bwe yamukubiranga essimu ng'ebyo bye bigambo by'amugamba.

Wabula bali awo ne wabaawo okubira nnyina essimu ng'amutegeeza nti mutabani we... nti yabadde tannayongerako kirala essimu n'evaako.

Batongole agamba nti mukyala we yeeyongedde okukuba essimu eyo yennyini nga bagiggyako emirundi gyonna wabula enkeera baabakubidde nga babagamba nti, omwana afudde ekintu ekyatabudde famire.

Nga bamaze okuggyayo omulambo mu ddwaaliro, ekkanisa yaguze esanduuko gye baasanzeemu akagoye akaddugala nga kaliko omusaayi ne bakekengera.

Mu lumbe ekiro waabaddewo vvaawo mpitewo ng'abavubuka abaavudde e Bweyogerere nga banoonya buli eyeeyita omulokole okumutuusaako obulabe nti be basse munnaabwe olwo abalokole bonna ne badduka mu lumbe olwo abakungubazi ne batandika okuyimba ennyimba ez'Ekikatoliki omugenzi mwe yava.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga