TOP

Baleppuka na gwa kuwamba na kutta muntu

By SHAMIM NABUNNYA

Added 21st May 2018

ABANTU abagambibwa okuwamba omuwala ate ne basaba ssente ne bamutta babakutte.

Mazzi 703x422

Hasifa Nyakayisiki metulooni w’essomero lya Twawil Muslim P/S e Kyengera - Mugongo ye yakwatiddwa poliisi y’e Katwe n’agambibwa okuba muganzi we Richard Ndawula omuvuzi wa bodaboda ku siteegi y’e Kabowa.

Kigambibwa nti bano beenyigidde mu kutta omuwala Charity Kyohairwe eyali ava okusaba mu kkanisa ya Synagogue of All nations eya Kakande e Mulago (ku Bbiri).

Okukwatibwa kyaddiridde Charity Kyohairwe okuttibwa omulambo ne bagusuula mu lusuku lw’omutuuze e Nalunkolongo - Kabaawo zooni mu Munisipaali y’e Lubaga ate abatemu ne bakubira abooluganda lwa Kyohairwe nti bakime omulambo gwabwe kasita ssente baali baziweerezza!

Ettemu lino lyaliwo mu kiro ekyakeesa Olwokutaano nga March 2, 2018. Omulambo gwali gusibiddwa ekyayi mu bulago ate ne gusobezebwako ne gulekebwa nga gubambiddwa.

Abatemu baakubira aba famire ya Kyohairwe nga bakozesa essimu nnamba 0783449547 kwe baalagira aba famire okusindikako ssente obukadde 2 n’ekitundu. Kyokka ate abatemu baddamu ne bakuba nga bategeeza aba nti nga bwe baali bakolaganye ne poliisi, omuntu waabwe bamusange e Mulago.

Poliisi ng’eyabimbwako aba CMI ababadde bakuuma Nyakayisiki okuva mu March lwe baamukwata, baateeberezza nti yandiba n’akakwate ku ba ADF.

Poliisi bwe yafuuzizza omuzigo gwa Nyakayisiki n’ezuula essimu eyaweerezebwako ssente n’egitwala ng’ekizibiti.

NYAKAYISIKI ANNYONNYODDE

Nyakayisiki yategeezezza nti waliwo omuvubuka ayitibwa Ndawula eyamuleetedde essimu nga waliwo mukwano gwe eyagimuwadde agimuleetere ku ssomero.

NDAWULA AYOGERA BIRALA

Kyokka Ndawula yagambye nti Nyakayisiki yamukubira essimu nti waliwo omuntu eyali agenda okusisinkana amuwe ssente emitwalo 50 okumpi ne ppaaka empya era bwe yamusisinkana yamuwa ssente n’azireetera Nyakayisiki era yeewuunya ate ensonga eyabadde emukwasa.

BASIMBIBWA MU KKOOTI

Nyakayisiki ne Ndawula ku Lwokutaano baasimbiddwa mu kkooti e Makindye, omulamuzi Christine Nantege n’abasomera omusango gw’okuwamba omuntu n’okutta omuntu oguli ku fayiro nnamba CRB 487/2018 n’abagaana okubaako kye boogera kuba emisango egibavunaanwa gya nnaggomola egiwulira kkooti enkulu.

Baasindikiddwa ku limanda e Luzira okutuusa nga June 5, 2018 lwe banadda mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana