TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyaviiriddeko Kitatta okukulukusa amaziga mu kkooti

Ebyaviiriddeko Kitatta okukulukusa amaziga mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

Ebyaviiriddeko Kitatta okukulukusa amaziga mu kkooti

Kit1 703x422

Abudallah Kitatta ng'akaabira mu kkooti

Abudallah Kitatta yalabise nga mugumu okutuusa, bwe yalagiddwa ekizibiti ky’emmundu olwo omujulizi wa Gavumenti n’ategeeza omulamuzi nti Kitatta gye yali akozesa.

Kitatta mu kiseera kino yabadde atandise okuvaamu ebiyengeyenge mu maaso, olwo omujulzi n’asowolayo emmundu endala n’agamba nti nayo baagisanga ne Kitatta. Wano Kitatta yatandise okukulukusa amaziga nga bw’anyeenya omutwe. Yabadde tannakkakkana n’alagibwa emmundu eyookusatu era omujaasi n’ategeeza nti zonna zaasangibwa ne Kitatta.

Yabadde aleeteddwa mu kkooti y’amagye e Makindye eggulo okuwulira emisango mukaaga egimuvunaanibwa ne banne 12 egy’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu n’ebyambalo by’amagye nga si bajaasi.

Kkooti y’emu yagobye okusaba kwa Kitatta okweyimirirwa. Ng’ali mu kaguli, Kitatta yalabise ng’awunze, ate ne bongera obujulizi bw’ebyambalo by’amagye bye yasangibwa nabyo. Gattako amasasi g’emmundu ennene munaana n’aga pisito ana(4).

Omujaasi Richard Kasaija akolera mu CMI ye mujulizi eyasoose n’ategeeza nti ye yakwata Kitatta nga January 20, 2018 e Wakaliga ku wooteeri ya Vine Tea mwe yali apangisizza ekisenge.

N’agamba: Okukwata Kitatta tebyali byangu. Yeesibira mu wooteeri n’agaana okuggulawo. Twakozesa ekisumuluzo ekirala, kyokka ne yeesibira mu kaabuyonjo. Twamala kumuwa biragiro nti bw’ataggulawo tumukuba amasasi.

Kitatta bwe yaggulawo twamwaza ng’alina pisito eteri yaabulijjo.” Era omujaasi agamba nti gwe gwali omulundi gwe ogusooka okulaba pisito eya zaabu. Pisito yalimu amasasi ataano (5) ng’erimu liri mu ‘cemba’ lirinze kukuba.

Pisito eyookubiri baagisanga mu mmotoka ya Kitatta, Toyota Noah UAK 135B. Mwalimu abasajja babiri abeeyanjula ng’abaserikale ba poliisi. Okuva awo baasibira ku ofiisi za Bodaboda 2010 e Wakaligagye baasanga emmundu ennene SMG. Baasangayo n’ebyambalo by’amagye, enkoofiira z’amagye musanvu, ebijambiya, akatayimbwa n’ebyuma bye baakozesanga okusumulula ennamba z’emmotoka.

Bwe baalaze emmundu, Kitatta eyabadde mu kajoozi aka kyenvu n’ayongera okukaaba ng’anyeenya omutwe okulaga nti takkiriza byabadde byogerwa.

Yayisizzaamu eddoboozi nti “ensi eraga wa?” Omuwaabi wa Gavumenti, Maj. Raphael Mugisha yabuuzizza Kasaija ekyavaako okukwata Kitatta. N’agamba nti baali banoonya batemu abatta omubazi w’ebitabo ku Case Hospital.

Agambibwa okuba omutemu baamukwatira Busega ku siteegi ya bodaboda. Aba bodaboda nga bakulirwa Joel Kibirige baagezaako okulwanyisa amagye obutamutwala kyokka bwe baakebera essimu ye ne basanga nga yali awuliziganya ne Kitatta. Awo amagye we gaatandikira okunoonya Kitatta.

Balooya ba Kitatta abaakulembeddwa Shaban Sanywa baasabye kkooti baweebwe obudde okwetegeka balyoke babeeko bye babuuza oludda oluwaabi. Ssentebe wa kkooti, Lt Gen Andrew Gutti kwe kwongerayo omusango okutuusa nga June 12.

Ku kusaba kwa Kitatta okweyimirirwa, Gutti yagambye nti abantu be yaleeta okumweyimirira tebazitowa kimala okusinziira ku maanyi ga Kitatta. N’agattako nti n’emisango gya Kitatta minene nnyo egitamala geeyimirirwa. Era Kitatta akolagana n’abanene mu poliisi ate kikonge kya NRM, alina obusobozi okutaataaganya obujulizi. Bwatyo okusaba n’akugoba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...