TOP

Mmengo egenda kuzimba ebitawuluzi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

Mmengo egenda kuzimba ebitawuluzi

Lip2 703x422

MMENGO egenda kuzimba ebitawuluzi okwetooloola Obwakabaka ng’omu ku kaweefube w’okukendeeza ku misango n’enjawukana eziva ku bantu okukaayanira ebintu naddala ebyenfuna omuli n’eby’obusika.

Bino byayanjuddwa Minisita Omubeezi ow’ebyobuwangwa, Yusuf Wamala Ggaganga bwe yabadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo abatuuze okuva mu magombolola okuli Ssaabawaali Kalagala, Mutuba II Katikamu, Ziroobwe ne Bamunaanika mu ssaza ly’e Bulemeezi nga bakulembeddwaamu Omumyuka wa Kangaawo Charles Ssegujja kwe baaleetedde oluwalo lwabwe e Bulange- Mmengo gye buvuddeko. “Obwakabaka bulina enteekateeka ey’okukola pulaani ey’ebitawuluzi mu Bwakabaka nga bifaanaganira ddala nga bw’olaba embuga z’amasaza.

Njagala okwebaza eggombolola y’e Katikamu etulaze nti nayo erina ky’etandiseewo, ebitawuluzi era mbasaba mukwatagane n’ekitongole kya gavumenti ezeebitundu okulambikibwa ku nsonga eno,” Minisita Ggaganga bwe yategeezezza.

Ggaganga yayongedde n’asaba abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okuweereza n’obwesimbu ate baleme kutunda bintu bya Kabaka ng’Omumyuka w’Oweggombolola y’e Ziroobwe, Ronald Ssenyonjo, bwe yakola ne yeekobaana n’abaali mu gavumenti eya wakati okutwala ettaka ly’eggombolola.

Ssegujja yasabye Mmengo ebayambe efune Bannamateeka okugenda mu bitundu by’ebyalo okubangula abantu ku mateeka n’okuwolereza abo abagagga be batwalako ettaka lyabwe.

Ssaabawaali Kalagala, George Kaleebu yategeezezza nti ensonga z’ettaka mu kitundu kye zeetaaga Obwakabaka okuyimukiramu okujja okuzigonjoola naddala erisangibwa mu muluka gw’e Degeya. Eggombolola yaleese oluwalo lwa nsimbi 2,117,000/-. Ab’e Katikamu nga bakulembeddwaamu Oweggombolola Mukuma Edmond Sserunkuma baaleese 2,700,000/-, Bamunaanika 2,190,000/-, ate Ziroobwe 1,551,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze