TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga ayagala poliisi eddizibwe omulimu gw'okukebera omutindo gw'ebidduka

Kadaga ayagala poliisi eddizibwe omulimu gw'okukebera omutindo gw'ebidduka

By Muwanga Kakooza

Added 22nd May 2018

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayagala omulimu gw’okukebera ebidduka okulaba oba biri mu mbeera nnungi guddire poliisi nga bwe gwali edda era wassibwewo kkamera z’oku nguudo ezisobola okulondoola abazza emisango gy’okuvuga endiima.

Aaaaaaasmall703422 703x422

Kino kiddiridde gavumenti okuggya ku poliisi omulimu guno n’egukwasa kkampuni y’obwanannyini eyeeyambisa ebyuma okukebera  n’okukakasa nti ebidduka biri mu mbeera nnungi.

Kyokka Kadaga eyabadde ayogera ku mukolo gw’okutongoza kaweefube w’okulwanyisa obubenje ku nguudo  amanyiddwa nga ‘’Legislative Action Plan on Road safety ‘’ wamu n’okufuna ekiwandiiko okuva  mu kibiina ekigatta ababaka abalwanirira obutebenkevu ku nguudo abeegattira mu kibiina kya ‘’ Parliamentary Forum on road safety’’  yasabye omulimu guno guddire poliisi.        

‘’Twetaaga omulimu gw’okukebera ebidduka guddire poliisi era eweebwe ebikozesebwa ebisobola okukola omulimu guno,’’ Kadaga bwe yagambye.

Yayongeddeko nti mu Amerika kamera ze zirondoola abavuga obubi  ne zibaloopa eri abakwasisa amateeka ne babakangavvula. Kino Kadaga ayagala kye kiba kikolebwe ne mu Uganda.

‘’Tuludde nga tuwulira eby’okussaawo kamera z’oku nguudo kyokka tetunnamanya we bituuse. Bwe zinaatandika kijja kuba kya mugaso mu kulondoola abavuga obubi,’’ Kadaga bwe yagambye.

Minisita w’eggwanga ow’ebyentambula, Aggrey Bagiire  yagambye nti okulwanyisa obubenje kwetaaga buli omu okukwenyigiramu n’asanyukira ababaka olw’okuvaayo ku nsonga eno.

Bagiire yasabye gavumenti okussaawo ssente ezimala okulwanyisa obubenje ku nguudo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...

Crisps4webuse 220x290

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe...

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.