TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Assad avudde mu Russia n'atimpula abamuyeekera

Assad avudde mu Russia n'atimpula abamuyeekera

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

PULEZIDENTI Hafez al Assad avudde mu Russia ng’alinga aliko ekimuwujja n’akuba bubi abayeekera abawagirwa Amerika okukkakkana ng’abagumbuludde okuva mu kitundu by’e al-Hajar al-Aswad mu bukiikaddyo bw’ekibuga ekikulu Damascus.

Assadputin 703x422

Putin ne Assad

PULEZIDENTI Hafez al Assad avudde mu Russia ng’alinga aliko ekimuwujja n’akuba bubi abayeekera abawagirwa Amerika okukkakkana ng’abagumbuludde okuva mu kitundu by’e al-Hajar al-Aswad mu bukiikaddyo bw’ekibuga ekikulu Damascus.

Assad yeewunguddeko n’ava mu Syria ku Lwomukaaga n’agenda kipayoppayo e Russia gye yasisinkanye munywanyi we Vladimir Putin mu kibuga Sochi ne beevumba akafubo akeetabiddwaamu bagenero ab’enjuyi zombi.

Olwavudde e Russia ku Ssande, Assad yabadde ng’omuwendule, olw’amaanyi n’obusungu bwe yakozesezza mu lulumba ssinziggu lwe yakoze ku bayeekera abawagirwa Amerika.

Yawadde ekiragiro amagye ge ne gakuba buli kiramu nga beeyambisa emmundu ezikuba emizinga n’ebikompola.

Okulwana kafungulankete kwalese abayeekera abasoba mu 120 nga bafu n’abalala nga 350 nga batuusiddwaako ebisago eby’amaanyi n’ebizimbe bingi nga biri ku ttaka.

Abajaasi ba Gavumenti ya Assad baalabiddwa nga bayisa ebivvulu bawanika emmundu ng’akabonero k’obuwanguzi n’okuyimba ennyimba nga beeyozaayoza.

Abalondoola olutalo bategeezezza nti abayeekera ba Islamic State baawanise ne basalawo okwewaayo kyokka ttivvi y’eggwanga e Syria yabijunguludde n’etegeeza nti okulwanagana kwabadde kukyagenda mu maaso.

Wakati mu kulwanagana okw’amaanyi, amagye ga Syria geddizza ebitundu okuli, al-Hajar al-Aswad n’ebitundu ebyetoolodde enkambi y’Abapalasitina ababundabunda e Yarmouk gye babadde baagobwa abayeekera omwezi oguwedde.

Okusindiikiriza abayeekera okubagoba mu bitundu mwe babadde bamaamidde, kabeera kabonero ka buwanguzi eri Pulezidenti Bashar al-Assad.

Kitutte ekiseera kya mwezi mulamba ng’amagye ga Syria galwana okwezza ebitundu bino era kati Assad alina w’assiza ku mukka. Ekitundu abayeekera kye babadde bamaamidde kikwatagana n’ensalo ez’amawanga nga Iraq, Turkey ne Jordan.

Newankubadde nga kikyali wabweru w’ekitundu Gavumenti ya Assad ky’erinako obuyinza naye tekigaana Assad kujaganya.

Assad aludde ng’akola ennumba z’ennyonyi n’asesebbula enfo z’abayeekera kyokka nga nabo bagaanyi okuwaayo obuyinza eri Assad.

Ekitongole ky’amawulire ekya SANA kyategeezezza nti abayeekera baasinze kubakuba nga badduka okusala okugenda e Hajar al Aswad ekitundu ekirimu ebizimbe ebingi nga banoonya okwekweka.

Ekibiina ekirwanirizi ky’eddembe ekya Syrian Observatory for Human Rights kyategeezezza nti abayeekera bwe baategedde nti Assad akaaye ne baddusa famire zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...