TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalunzi b'embizzi mu Masaka babaleetedde tekinologiya ow'omulembe

Abalunzi b'embizzi mu Masaka babaleetedde tekinologiya ow'omulembe

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

Abalunzi b'embizzi mu Masaka babaleetedde tekinologiya ow'omulembe

Juk1 703x422

Mbabali ng'anyonnyola ku tekinologiya ono

Bya Maria Nkayeyune
 
Mu kaweefube owokwongera akatale k'embizi ebweru w'eggwanga, abalunzi n'abasuubuzi baazo bongeddwamu obukodyo nga kati bakuzitundira ku mutimbagano ng'abantu abawera 226 be baakayungibwa ku tekinologiya ono (application).

Mu nsisinkano n'abalunzi wamu n'abakulembeze mu Disitulikiti y'eMasaka ebadde mu kisenge ekiteeserezebwamu eky'eSsaza Buddu, Masaka Disitulikiti mw'enokoleddeyo ng'esinga mu Uganda mu kulunda embizzi ng'ate mu East Africa Uganda yekyasinze.

 

Omukungu mu Kitongole kyensi yonna ekivunanyizibwa ku kulima n'okulunda nga y'akulembeddemu enteekateeka eno Dr.John Misheo ategeezezza nti Uganda erimu embizzi ezikunuukiriza obukadde butaano nga omuwendo gw'abazirya n'okuzirunda gulinnya buli olukya nga bwe bayungibwa ku mutimbagano kijja kubayambako okufuna akatale, eddagala erizijjanjaba n'amagezi ag'enjawulo.

Kkansala Ibra Kabugo nga ye Ssentebe w'akakiiko ka District ak'ebyobulimi n'obulunzi ategeezezza nti okulunda embizzi kati gw'afuuka mulimo ogulimu obutitimbe bw'ensimbi n'asaba abantu obuteetya wabula baveeyo bongere amaanyi mu kuzirunda.

Ssentebe wa Disitulikiti eno Jude Mbabaali nga y'atongozza enkola eno ategeezezza nti enteekateek eno etandikidde Masaka nga kati abalunzi baakuwuliziganya mku masimu gaabwe butereevu nga kigenda kwongera okutumbula eby'enfuna mu Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...