TOP

Abasiraamu b'e Kira bafunye eby'okusiibulukuka

By Faith Nakanwagi

Added 22nd May 2018

Abasiraamu b'e Kira bafunye eby'okusiibulukuka

To1 703x422

Abasiraamu b'e Kira nga bakwasibwa ebintu

ABASIRAAMU okuva mu miruka etaano egikola kira , bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa Meeya wa Kira Julius Mutebi okubasakira ebikozesebwa mukusiiba.

 Bano baweereddwa Sukaali kkiro 10, Omuceere kkiro 20, Engano kkiro 10 awamu n'ebijanjaalo kkiro 15 .

Okusinziira ku Meeya Julius Mutebi ategeezezza nti ebintu bino biwereddwaayo bannagwanga lya Oman nga bali
wansi w'ekitongole kya ALJISA Foundation.

Bano baamusaba afuneyo amaka 1000 agalimu abasiraamu abatesobola mubyenfuna, abakadde n'abo abaliko obulemu.

 
Ye atwala ettwale lya Kira Sheikh Muhammed Kabunga asanyukidde ekikolwa Meeya kyakoze olw'okufaayo okusakira  abasiraamu wadde nga ye simusiramu . 
 

Dr Muhammed okuva mu ggwanga lya Oman ategeezezza nti tebagenda kkoma kukugabira basiraamu bintu kyokka bakwongera enkolagana ne Kira Monisipaali okuli okubazimbira amasomero , amalwaliro awamu n'amazzi amayonjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.