TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Assad amaanyi ge yaggye e Russia Katonda yekka y'agamanyi! Akubye abayeekera ne yeddiza ekibuga mascus

Assad amaanyi ge yaggye e Russia Katonda yekka y'agamanyi! Akubye abayeekera ne yeddiza ekibuga mascus

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2018

PULEZIDENTI wa Syria, Bashar Hafez al-Assad Bashar afunye obuwanguzi obukyasinze okubeera obw’amaanyi ku bayeekera abawagirwa Amerika bukya olutalo lutandika mu July 2011.

Funa 703x422

Abajaasi ba Syria nga bawaga

Mu buwanguzi buno, amagye ga Assad gakubye bubi abayeekera abawagirwa

Amerika ne gabafulumya ekibuga Damascus nga kati ekibuga kyonna kiri mu mikono gye.

Guno gwe mulundi ogusoose mu myaka mukaaga ekibuga Damascus kyonna okubeera mu mikono gya Gavumenti ya Assad okuva mu 2012 ebibinja by’abayeekera eby’enjawulo ebyegattira mu ggye erya Free Syrian Army lwe byakisensera ne biwamba ebitundu ebimu.

Okuva mu July 2012, Damascus nga kye kibuga ekikulu ekya Syria era nga kiwerako obunene bwa mayiro 41 kibadde kigabanibwa Gavumenti n’abayeekera kyokka mu nnaku ssatu eziyise, amagye ga Assad gakeesezza abayeekera emmundu okukkakkana nga babawambyeko ebifo bye babadde bafuga.

Omwogezi w’amagye ga Assad, Gen Ali Mayhoub yasinzidde ku ttivvi y’eggwanga n’alangirira obuwanguzi obutuukiddwaako ne yeebaza Pulezidenti Assad olw’obuduumizi bwe obusobozesezza Syria okuwamba be yayise abatujju abawagirwa amawanga ga kkirimaanyi.

Gen. Mayhoub yagambye nti, ekitundu kya Yamouk ne Hajar al-Aswad byanunuddwa okuva mu mikono gy’abayeekera n’abatujju aba Islamic State nga kati ekibuga Damascus kyonna kiri mu mikono gya Gavumenti.

Yategeezezza nti amagye gaasobodde okuwamba ebyokulwanyisa bingi omuli n’ebyomulembe bye yagambye nti nkola ya Amerika ne Bufaransa nga mwabaddemu ttanka ennwaanyi, emizinga egiwalulwa ku mmotoka, emizinga egikuba ennyonyi n’emmundu ennene n’entono.

Kati obwanga Assad abwolekezza ebibuga ebirala naddala ebiri mu bukiikakkono bwa Syria ebikyali mu mikono gy’abayeekera n’annyonnyola nti omwaka guno okuggwaako nga Syria yonna ezze mu mikono gya Gavumenti.

Olutalo lwa Syria lugenda okuweza emyaka munaana bukya lutandika mu ngeri ey’olusaago nga tewali akisuubira nti lusobola okuttukiza akakuku ka Amerika ne Russia, amawanga mu kiseera kino ageenyigidde obutereevu mu lutalo luno.

Abantu abasoba mu 465,000 be baakafiira mu lutalo nga battiddwa amasasi, bbomu, emizinga ne mizayiro ebikubibwa emisana n’ekiro ng’olutalo terutaliza mwana na mukulu.

Baagatako n’okukuba omukka ogw’obutwa nga gwe gwavaako Amerika okutabuka n’erumba Syria nga bagamba nti abantu battibwa bwemagge. Abantu abawerako ne batuusibwako ebisago ebyolubeerera mu bulumbaganyi buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...