TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro Mayiaga asoomoozezza Poliisi ku tekinologoya akwata ababbi

Katikkiro Mayiaga asoomoozezza Poliisi ku tekinologoya akwata ababbi

By Dickson Kulumba

Added 23rd May 2018

Katikkiro Mayiaga asoomoozezza Poliisi ku tekinologoya akwata ababbi

Hub1 703x422

Katikkiro ng'annyonnyola

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asomoozezza Poliisi okukozesa tekinologiya ali ku mulembe basobole okukwata abatemu abagufudde omugano gw’okutta abantu naddala wano mu bitundu bya Buganda ekintu kyeyagambye nti singa tekisalirwa magezi, kyandireetera gavumenti obuzibu.

Bino yabyogeredde Bulange- Mmengo ku Lwokubiri May 22, 2018 bweyabadde asisinkanye abatuuze okuva mu magombolola ag’enjawulo mu  ssaza ly’e Busiro abazze okuleeta Oluwalo lwabwe olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

 

“Okuwandiisa essimu kyokka tekimala  kubanga mu nsi muyinza okubaamu ba John Mukasa bangi, bonna onabanoonya gyebali? Naye kyetaaga tekinologiya asobola okulondoola oli wakubidde essimu kubanga tekinologiya alondoola essimu weeri, waali nga kino kyetaagisa tekinologiya atali wakikugu nnyo eraga ekifo omuntu wakubidde essimu ekoze obuzibu. Simanyi lwaki ono tebamukozesa okukwata abattemu. Negatta ku bakulembeze b’e Busiro okusasira bonna abafiriddwa abantu baabwe,” Mayiga bweyategezezza.

Kino kiddiridde okuwambibwa n’okuttibwa kw’abaana babiri okuli Israel Namaleego (4) ne Dorcus Nakiwunga (2) ab’e Naluvule mu ggombolola ya Mumyuka Wakiso nga bawambibwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde kyokka ku Mmande ya wiiki eno nebasangibwa nga battiddwa!

Abaami ba Kabaka abatwala ekitundu okuli Aloysius Ssemmanda nga ye Mumyuka w’Omwami atwala essaza ly’e Busiro wamu ne Edward Nsibuka nga yatwala eggombolola  

Mumyuka Wakiso bebasoose okumulopera ettemu erisusse mu kitundu kyabwe.

Ku lulwe Ssemmanda naye eyasimatukako abattemu yategezezza nti yasalawo okukuza ekirevu okutuusa Uganda ne Buganda lwebirivaayo okuvumirira ettemu erisusse mu ggwanga ensangi zino.

Katikkiro Mayiga yayongedde nategeza nti ekikolwa ky’okuwamba n’okutta abantu kiriko abantu abakiri emabega n’ekigendererwa ky’okukumira abantu mu kutya nategeza nti kino tekitwala nkulakulana mu maaso nga buli kadde babeera mu bweralikirivu bwa kutaasa bulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...