TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa budalasiini okufuna otulo

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa budalasiini okufuna otulo

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa budalasiini okufuna otulo

Deb2 703x422

Butto wa Budalasiini amaze okukamulwa.

ABANTU bangi bazze bambuuza ku butto wa Budalasiini n’okwongera okubannyonnyola endwadde z’avumula. Leero kankulage engeri gy’okozesaamu Budalasiini n’okekkereza ssente ku ndwadde n’okutta ebiwuka mu nnimiro. Budalasiini ssinga omwemanyiiza asobola okukuyamba okukendeeza ssente z’otwala mu ddwaaliro.

AKOLA BINO l Abakyala abalumwa nga bali mu nsonga, Budalasiini akuyamba omusaayi okuta ne guba nga gufuluma mangu. Nywa ettondo limu mu kikopo kya caayi, jjukira twogera ku Budalasiini omukamule.

 Mu baana abatayagala kulya, bw’omumuwa mu caayi amuyamba okulya kuba aleeta okwagala okulya ate asala omugejjo kuba bw’olya ate ayokya amasavu.

 Olw’okuba ayamba okugogola emisuwa, kati abantu abayinza okufuna omusaayi okwetukuta kibayamba omusaayi ne guba nga gutambula bulungi.

 Ku bantu abalumwa ennyingo abayamba, bw’omwesiiga. Ku muntu alya n’alwako omukkuto ng’ekyenda tekikuba bulungi mmere, ayongera asidi akuba emmere mu lubuto.

 Omuntu alumwa olubuto nga yalidde emmere n’efuuka obutwa, munywe akuyambe.

Ku muntu afuna obuzibu ku mazzi, okugeza oli n’anaaba amazzi ne gamusiiwa (abantu bamanyi okukifuna nga bagenze mu kyalo) oteeka amatondo 5 mu mazzi tofuna buzibu.

Ate ku muntu alumwa erinnyo otonnyezaamu amatondo 2 ne lisirikirawo.

Ssinga obulwa otulo, muWaliwo engeri gye nnyinza okukozesa empirivuma nga sigikamuddeemu butto? Winnie Nakamya e Bulenga. Osobola okugikozesa ng’ogisiseeko n’okolamu kaawa wabula ate kino ekivaako ebirungo ebigirimu okwonooneka ekitegeeza oba ogenda kunywa kaawa atalina mugaso gw’amaanyi.

Wabula bw’ogikamulamu butto, ebirungo byonna obisigaza. Jjukira butto w’empirvuma akuyamba ku ntunnunsi, okugumya ebinywa by’omutima ne gutalwala, ebizimba mu nnabaana, okuyamba ku nkwaso, akola ku maanyi g’ekisajja, okugumya amagumba n’ebirala. Naye emigaso egyo osobola okugifuna ng’okozesezza butto.

Emigaso gy’empirivuma nywa oba okutonnyeza amatondo ataano ku katto ke weezizika ajja kukuyamba okufuna otulo olw’ekirungo kya ‘cinnamyl aldehyde’ ekimulimu.

OMULIMI AMUYAMBA l Ku balimi, basobola okumweyambisa ne bakekkereza ssente okulwanyisa enkuyege.Osobola okumukozesa ng’oteeka amatondo 20 mu liita 20 ez’amazzi n’ofuuyira.

Okola kye kimu ggwe alina emmwaanyi oba ebirime ebirala ng’oyagala okugoba munyeera n’ebiwuka ebirala.

l Ku muntu ameza ebirime ng’osaze buti (oyagala okuleeta mangu emirandira), okugeza abameza emmwaanyi osobola okumukozesa ng’oteeka ettondo limu mu liita y’amazzi n’onnyikamu akati okumala eddakiika ttaano n’osimba, mangu emirandira.

l Ate ku bakyala kaleeta obwagazi.

OMULWADDE WA SSUKAALI Ku balwadde ba sukaali abakolera kubanga guwa omuntu ssukaali gwe yeetaaga mu mubiri. Ku muntu akola ku mikolo, osobola okumutabula mu mazzi abantu ge banaaba mu ngalo. Edda nga waliwo kawumpuli mu Bulaaya, abantu ababbanga emirambo baamukozesanga nga kawumpuli tabakwata.

BUDALASIINI Mu myaka egisooka ng’omusimbye, osobola okukozesa amakoola, wabula ekirungo ekirungi ekikola ebyo bye njogeddeko kiri mu bibajjo ebiva ku muti, wabula omuti gulina okuba nga guwezezza emyaka etaano. Osobola n’okusimba Budalasiini nga bizinensi era bamugula nga nange mmugula. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...