TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi Qute Kaye bamuggalidde lwa kubba kataala ku mmotoka

Omuyimbi Qute Kaye bamuggalidde lwa kubba kataala ku mmotoka

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2018

Omuyimbi Qute Kaye Kaye eyayimba 'Gundeeze' asimattuse okugajambulwa abatuuze e Bugesa oluvannyuma lw'okumukwata lubona ng'asumulula amataala g'emmtoka etali yiye.

Whatsappimage20180524at1011 703x422

Cute Kaye n'obutaala bw'abadde asumuludde ku mmotoka

OMUYIMBI Qute Kaye (Brian Ivan Kaye) eyacaaka ennyo olw’ennyimba okuli; 'Ginkeese' (emikwano), ‘Gwe ndoota’ n’endala ensi emunyize! Bamukutte lubona ng’abba obutaala ku mmotoka ya  Jackson Musisi omutuuze e Busega.

Wabula Poliisi eyayanguye okutuuka mu kifo kino ye yamutakkuluzza ku batuuze abaabadde bataamye obugo.

Okusinziira ku sitatimenti Musisi gye yakoze ku poliisi y’e Busega gye yaggudde omusango oguli ku fayiro nnamba SD:04/24/05/2018, Musisi agamba nti, Qute Kaye yawalampye ekikomera kye mu kiro ekyakeesezza Olwokuna n'agwa munda.

Musisi yawulidde akagombe ke yassa mu mmotoka okumulabula ku babbi nga kavuga.

Yawawamuse n'alingiza ebweru ng’alaba omusajja ng’ali ku mmotoka ye nnamba UBA 482K asumulula amataala.

Qute Kaye bwe yategedde nti, bamulabye n'abuuka ekikomera okudduka kyokka Musisi ng’ayambibwako banne baamuwondedde nga bwe bakuba enduulu eyazuukusizza abantu abalala ne bamukwata. Baagenze okwetegereza nga ye Qute Kaye.

Wano omu ku batuuze yakubidde poliisi essimu kubanga abatuuze baabadde batandise okumukuba obubi.

Muhamadi Byansi atwala poliisi y’e Nateete, yakakasiza okukwatibwa kwa Qute Kaye era yalagidde aggyibwe ku poliisi y’e Busega we baasoose okumusibira okutwalibwa ku poliisi y’e Nateete ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Qute Kaye abadde amaze ebbanga ng’ebintu tebimutambulira bulungi era gye buvuddeko yagenda ewa Paasita Robert Kayanja ku Lubaga Miracle Centre Cathederal ne bamusabira n'ategeeza nti alokose era yeenenyezza ebibi bye.

alt=''

 

ute aye ngali ku oliisi e ateeteQute Kaye ng'ali ku Poliisi e Nateete

 

 ute aye ngali ku oliisi e ateete Qute Kaye ng'ali ku Poliisi e Nateete
 usisi nnannyini mmotoka eyabbiddwaako amataala Musisi nnannyini mmotoka eyabbiddwaako amataala

 

 

 mmotoka ute aye gyasumuluddeko obutaala Emmotoka Cute Kaye gy'asumuluddeko obutaala

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....