TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4 amuwambe bamukutte

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4 amuwambe bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2018

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi y'e Ntebe bwe bakutte omusajja amaanyidwa nga Grace Esanga ne banne abalala basatu nga bagezaako okulimbalimba omuyizi wa S.4 bamuwambe .

Whatsappimage20180524at20027pm 703x422

Grace Esanga ng'ali ku mpingu

Kigambibwa omuwala abadde ava mu kyalo e Bundibugyo ng'adda Kasangati gy'asomera mu Kasangati S.S.

Kyokka banne ba Esanga abasatu beesimatudde ne babulira mu luvuvung'ano lw'abantu ababadde baking'aanye era teri n'omu azzeemu kubalako.

Ye Esanga atwaliddwa ku Poliisi n'aggalirwa. Omuwala amannya gasirikiddwa era bakira Poliisi emubise ebigoye obutamulaga bantu olw'ensonga z'ebyokwerinda.

Bino bibaddewo ku ssaawa 7 ez'ettuntu lya leero ku Lwokuna.

 

Bya Allan Luswata

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Pulezidenti Museveni alambudde...

Pulezidenti Museveni alambudde oluguudo lwa Soroti - Moroto

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu