TOP

Bategese ebikujjuko okujjukira Ivan Ssemwanga

By Martin Ndijjo

Added 25th May 2018

Bannayuganda e South Africa bategese okujjukira obulamu bwa Ivan Ssemwanga.

Kl 703x422

Olunaku Ssemwanga lwe yasisinkana abaana ba M-Lisada omulundi gwe yasemba okujja mu Uganda. wano nga abagabira ssente.

Leero (May 25, 2018) guweze omwaka bukya omugagga Ivan Ssemwanga (Ali Ssenyomo) ava mu bulamu bw’ensi eno.

Bannayuganda e South Africa bakoze enteekateeka okujjukira n’okusiima omugenzi olw’ebirungi bye yaleka akoze.

Bategese ebikujjuko bya nnaku biri (Lwakutano n’Olwomukaaga) omuli n’okusaba okwenjawulo mu maka ge e Brooklyn mu Pretoria.

Zari Hassan maama w’abaana ba Ssemwanga abasatu mu bubaka bwe agambye nti ekifaananyi ky’omugenzi tekimuva ku maaso era wadde basubwa omukwano gwe, nga famire tebagenda kumwerabira bagenda kusigala nga beebaza Katonda olw’ekiseera ekirungi kye yamubawa okubeera naye ku nsi.

Ate King Lawrence omu ku b’oluganda lw’omugenzi agambye nti nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Rich Gang bagenda kusigala nga bakuuma erinnya n’ekitiibwa kya Ssemwanga.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....