TOP

Poliisi ya Uganda yeesasulizza ku ba ,Mai Mai

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2018

Poliisi ya Uganda yeesasulizza ku ba ,Mai Mai

Oc1 703x422

Martin Okoth Ochola

ABEEBYOKWERINDA mu Ugganda beesasuliza ku bayeekera ba Mai Mai okuva mu DR Congo abaawambye Bannayuganda mukaaga bwe bakutte abaabwe 26.

Omuduumizi wa poliisi mu Uganda, Martin Okoth Ochola yagambye nti, abayeekera ba Mai Mai baakubidde aba famire z’abantu be baawambye ne babategeeza nga Gavumenti ya Uganda bw’erina okusooka okubawa bookisi z’amasasi 10, balyoke bayimbule abantu baabwe.

Ochola yagambye nti bino olwabagudde mu matu nabo ne bakola ekikwekweto mwe baakwatidde abavubi abaabadde basaze okudda ku ludda lwa Uganda 26, abateeberezebwa okubeera n’enkolagana n’abayeekera bano.

Ochola yategeezezza nti, basuubira abamu ku bawamba abantu bayinza okuba ng’abayeekera bano babalinamu omukono n’ekigendererwa ky’okunoonya ssente okusobola okutwala mu maaso ebikolwa byabwe eby’ekitujju.

Guno si gwe mulundi ogusoose ng’abayeekera okuva mu mawanga agatuliraanye okuwambaabantu n’okusaba Gavumenti ssente ng’akamu ku bukwakkulizo okusobola okuyimbula ababeera bawambiddwa.

Mu August wa 2016, waliwo ekibinja ky’abayeekera okuva mu South Sudan ekyawamba Bannayuganda mukaaga abaali batunda embaawo mu disitulikiti y’e Lamwo ne basaba aba famire zaabwe okubawa doola 890, buli muntu balyoke babayimbule.

Mu mwaka gwe gumu, abayeekera okuva ku ludda olwali luwagira Dr. Riek Machar, eyaliko omumyuka wa Pulezidenti wa South Sudan, baawamba Bannayuganda 41, ku luguudo oluva e Nimule okudda e Juba ne bakubira abantu baabwe nga babasaba ssente empitirivu balyoke babayimbule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...