TOP

‘Baakozesezza mwannyinaze okubuza baze’

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2018

‘Baakozesezza mwannyinaze okubuza baze’

Gap1 703x422

Ssematiko eyawambiddwa.

ABASUUBUZI b’e Kasubi baakeredde mu kikangabwa ku Lwokuna oluvannyuma lwa musuubuzi munnaabwe okuwambibwa awaka n’atwalibwa mu kifo ekitannamanyika. Abdu Ssematiko omusuubuzi mu katale k’e Kasubi nga mutuuze w’e Kyengera yawambiddwa okuva mu maka ge mu kiro ekyaakeesezza Olwokuna ku ssaawa 6:00.

MUKAZI WE ATTOTTOLA: Rahman Nakawooya yategeezezza nti, “ku ssaawa 6:00 waliwo abazze ne babakonkona wabula n’asooka awenjula kateni abalabe mu ddirisa kyokka waabaddeyo enzikiza nga tasobola kubalaba.

Beeyongedde ne bakonkona oluvannyuma eddoboozi ne liva ebweru nga ligamba nti, ‘nze ofi isa ku poliisi e Kyengera nsaba kwogerako ne Ssematiko obusonga butono nnyo.’ Mu kiseera kino, baze yavudde mu kisenge n’ajja mu ddiiro okunoonya ekisumuluzo okuggulawo wabula ne nsooka mugaana okuggulira abantu be tutannategeera bulungi.

Abali ebweru bwe baawulidde nga twenyoolera munda tetuggulawo kwe kulagira mukulu wange gwe bazze naye okubaako ky’ayogera era ng’ono we yategeerezza nti mwannyinaze ggulawo bandi bubi baagala kunzita. Wano Ssematiko bwe yakiwulidde n’anzigyako ekisumuluzo ku kifuba nga bw’ategeeza nga mukoddomi we bw’atayinza kufa nga ye ali munda era yabadde yaakabandula oluggi abasajja babiri ne bamubaka ne bamuyingiza mu mmotoka eyabadde mu langi enjeru.” Nakawooya agamba nti yakutte ennamba yaayo eyabadde UBB 971J nga yaabuyonjo era nga Ssematiko yagenze alaajana nga bw’abuuza gye bamutwala. Nakawooya yakubidde ku bamu ku boobuyinza wabula nga bonna tebakwata masimu era n’asalawo okulondoola ku poliisi ez’enjawulo okulaba oba bba gye baamusibidde. “Nagenze ku poliisi y’e Kyengera, Kawaala, Kasubi, Old Kampala, CPS Kampala, Katwe wabula ng’eno yonna taliiyo n’atandika kusaba kimu Katonda akomyewo bba nga mulamu.

ABASUUBUZI BABITADDEMU ENSONGA Z’AKATALE: Omu ku basuubuzi mu katale kano, Deborah Namale yategeezezza nti oluvannyuma lwa Ssematiko okuba nga y’omu ku bawakanya eky’okusengula abasuubuzi okubazza mu katale ka Wangi, kyandiba ng’abeeyita abakulembeze b’akatale be baawambye musuubuzi munnnaabwe.

Ono yategezezza nti tebagenda kukkiriza munnaabwe kuwambibwa bwatyo olw’ensonga z’akatale ate nga balina n’abalala be baalabula okuwamba ekikyaleetera n’abamu ku basuubuzi okusuulawo emirimu gyabwe nga batya okuwambibwa. Mu kiseera kino ensonga ziri ku poliisi y’e Kyengera ng’enoonyereza okuzuula Ssematiko gy’ali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata