TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ssente z'ebicupli bwe zizing'amyamu eby'obusuubuzi.

Engeri ssente z'ebicupli bwe zizing'amyamu eby'obusuubuzi.

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2018

Engeri ssente z'ebicupli bwe zizing'amyamu eby'obusuubuzi.

Bic1 703x422

EGGULO, twakulaze ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo naddala ebyokulya ebicupule n’engeri gye bikosaamu obulamu bwo, ne ssente ezibigula nazo bongedde okuzicupula, Poliisi egamba kikyali kizibu okumalawo ebicupuli bya ssente ne Bbanka enkulu eya Uganda, etunuulidde poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe okubirwanyisa.

Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, poliisi ya CPS yakutte omukazi Sauda Namyenya 38, omutuuze w’e Kagujje mu Katwe n’ebicupuli bya ssente ezisoba mu bbiriyooni bbiri. Zino zonna n’endala ezitaakwatiddwa, zikomekkerera mu maduuka g’abasuubuzi n’omuntu wa bulijjo.

Abamu beefuula abaagala okubamenyeramu, ate abalala bazigulamu ebintu naddala nga babazizza nti, omuntu ali mu dduuka, kimuzibuwalira okwawula ssente entuufu ku nnamu. Abatambuza ebicupuli mu Kampala, basinga kwettanira enguudo William Street ne Wilson era poliisi okukwata Joseph Mugerwa eyagituusizza ku Namyenya, nga yamusanze ku William Street n’akakadde kalamba ak’ebicupuli. Mugerwa, atunda cakalacakala w’essimu ku kkubo, ssente zino yabadde azeeyambisa okuddiza baaba aguzizza ebintu naddala mu budde bw’ekiro.

Okusinziira ku kunoonyereza kwa poliisi, abagaba ebicupuli ennyambala yaabwe, tebeera ya bayaaye ba bulijjo, babeera bambadde ng’abantu ab’obuvunaanyizibwa ng’omuntu tasobola wadde okumuteebereza nti, asobola okugaba ssente enfu. “Omuntu ayingira edduuka ng’ayambadde essuuti ya buwanana anyirira, abakazi nga beesibye ggomesi n’olaba omuntu ow’ekitiibwa nga tosobola kumuteebereza nti agaba ebicupuli,” Haji Katimbo, ssentebe wa Kikuubo Business Community Association (KBCA) bwe yategeezezza. Martin Lukaaga, akulira okuyiiyiza n’okuvumbula mu bbanka Enkulu eya Uganda yannyonyodde nti, ssente enfu tezirina mugaso gwonna eri muntu era oyo gwe bazisibye mu butamanya, ziba tezirina kye zigenda kumugasa.

 iloya owa bbanka nkulu eya ganda ngannyonnyola engeri gyoyawulamu ssente entuufu ku Piloya owa bbanka Enkulu eya Uganda ng’annyonnyola engeri gyoyawulamu ssente entuufu ku

 

ENGERI EBICUPULI GYE BIKOSAAMU ABASUUBUZI; Abazikola n’abazisaasaanya zibagasa kubanga bafunamu ennamu ze basobola okugulamu ebintu wabula abasuubuzi be baziwa, basigala bakaaba kubanga babeera tebasobola kuzikozesa kusuubula.

Haji. Mohammad Katimbo, ssentebe wa KBCA, ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kikuubo yagambye nti, ebyamaguzi bw’omala okubisasulira omusolo nga ne gye wabiggye wabiguze ssente nnamu, omuntu n’abitwala ng’akuwadde ssente nfu, libeera ddibu ddene mu bizinensi.

Yagambye nti, mu Kikuubo, abagaba ebicupuli bangi bagenzeeyo nga beefudde abaagala okusuubula era be basiba ssente zino naddala ababa batunze mu bungi, beesanga nga bizinensi zigudde. “Abasuubuzi abasinga balina amabanja ggwe teebereza olina ebbanja lya bbiriyooni, bakusibye ebicupuli bya bukadde 20 oba 50 bw’otoba musajja nnyo eryo eddibu okuliziba osiitaana,” Katimbo bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, obuzibu abasuubuzi bwe balina kati, ebicupuli babikola nga bya mulembe byagalira ddala okufaanana ssente ennamu ate ababigaba babaza nnyo mu kaseera akalimu okupakuukirira nga gwe bawadde ssente zino tasobola kusooka kuzeekebejja.

Katimbo yagasseeko nti, ebicupuli ebirongoseemu abantu bano babikozesa n’okusuubula ebirime n’ebyamaguzi ebirala mu byalo ekittattanye ebyenfuna by’eggwanga. Everest Kayondo, ssentebe wa Kampala City Traders’ Association (KACITA) yagambye nti ebicupuli bubeera bubbi bwennyini kubanga bwo bubeeramu ssente enfu.

Yagasseeko nti, omuntu okutwala ebibyo n’akuwa ebipapula by’otolina ky’ogenda ku bikozesa, abeera akubbye. Yagambye nti, ssente zirina emigaso ebiri, zitereka obugagga ate zikutula ebiba biremye mu nsuubulagana, ebicupuli kye bitakola. “Obubbi obw’engeri yonna buzza emabega ate mu ngeri eyo, ne ssente zammwe bazimalamu ensa, bwe baziwa omuntu atasobola kwawula ntuufu ku nkyamu nga abalambuzi, baba tebajja kudda mu nsi yammwe,” Kayondo bwe yategeezezza.

EBICUPULI BIVA WA? Poliisi ezze ekwata abantu ab’enjawulo abatambuza ebicupuli wabula tetuukanga ku nsibuko yaabyo. Mu October wa 2017, URA yakwata kondakita wa bbaasi eyategeerekekako erya Wahib lyokka n’ebicupuli bya bukadde 189 ng’abikukusa okubiyingiza mu Uganda. Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango, ebicupuli biva mu mawanga agatuliraanye okuli Tanzania ne Kenya.

Kyokka Onyango agattako nti, waliwo ne bye bakolera mu Uganda. “Ebyuma ebyali bikuba ebicupuli mu Uganda baabiwamba abantu kati babiggya mu mawanga agatuliraanye naye tetubuusa maaso eky’okubeera nga wandiba nga waliwo abalina ebyuma ebikuba ebicupuli mu Uganda ebirala,” Onyango bwe yategeezezza.

Wabula Kayondo ye agamba nti, balina okuteebereza ng’abakuba ebicupuli, bali mu Gavumenti. Yagambye nti, langi ekozesebwa mu kukola ssente, si ye langi eya bulijjo n’ebintu ebiteekebwa mu ssente, bya njawulo nnyo ng’okubifuna okubiteekamu,wateekwa okubaawo omuntu munda abiwa abakuba ebicupuli. Kyokka, akola nga dayirekita avunaanyizibwa ku ssente mu bbanka Enkulu eya Uganda, Julie Piloya Okiror yagambye nti, ekyo si kituufu, lwe lugambo olutaliiko mutwe na magulu oluli mu bantu lwe beetaaga okuggya mu mitwe gyabwe.

 nyango Onyango

 

Okusinziira ku nsonda mu bbanka Enkulu eya Uganda , kkampuni y’Abangereza eya De La Rue, y’ekuba ssente za Uganda nti kyokka waliwo kkampuni endala nga nnya, ezeeyambisibwa oluusi.

Tewali ngeri yonna muntu mu bbanka gy’asobola kuba nga yeenyigira mu kukuba ebicupuli okuggyako ng’ababikuba balina ngeri bwe baakwataganamu ne kkampuni ezo ebweru ezikuba ssente. Joseph Mugerwa eyatuusizza poliisi ku Namyenya yagambye nti, Poliisi ekintu ky’eriko kinene nnyo okusinga abaserikale bwe basuubira.

Yagambye nti, waliwo ebibinja by’abagagga mu Kampala abaagufuula omulimu okukola ebicupuli. Mugerwa yagambye nti, ebicupuli bye bakubira e Uganda, omutindo gubeera mufu era abantu babibuuka mangu, bye bakubira e Kenya, bisobola okuyita wabula nabyo era abantu bamala ne babimanya n’agattako nti kati abasajja mu Kampala babiggya China.

Yagambye nti, abasuubuzi abasinga mu Kampala abalina ssente ezeewuunyisa, basuubula bicupuli kuva China. “Batikkula kkonteyina nga wakati mu ngoye oba engatto mulimu ssente ze basibiddemu. Balina abantu baabwe mu URA ababayamba okuyisaawo ssente ezo nga tebazirabye,” Mugerwa bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, ssente ze bakubira e China, ne bw’abeera Gavana wa bbank a ya Uganda Enkulu, bazimuwa n’aziwa omulala nga tategedde nti bicupuli.

Piloya yagasseeko nti, ebicupuli biri mu nsi yonna wabula kye basomesa abantu, y’engeri gye basobola okwawula ssente ku zitali ssente. OBUBONERO KWOYAWULIRA SSENTE ENFU KU NNAMU; Ssente za Uganda, bakakensa ba bbank Enkulu eya Uganda baaziyiiya nga zirina ebintu bingi ebizikuuma nga tezicupuddwa era guno gwe mulimu gwa bbanka Enkulu eya Uganda gw’esinga okuteekako essira.

Ebimu ku bintu bino, babikyusakyusa okusinziira ku kiseera. Martin Lukaaga, akulira okuyiiyiza bbanka eno yagambye nti, ssente zirina emiteeko esatu, zirina ebyo abantu bye basobola okulaba, zirina ebyo ebisobola okulabibwa ebitongole by’ebyensimbi n’ebyo bbanka Enkulu eya Uganda bye yeesigaliza nga yo.

Yagambye nti, buli lupapula, lulina ebintu eby’enjawulo okusinziira ku buwangwa bwa Uganda kw’osobola okulwawulira okugeza; l Akapapula ak’olukumi kaliko empeewo n’ensozi za Nyero ezisangibwa mu disitulikiti ye Ngora l Akapapula k’enkumi ebbiri, kaliko ekyennyanja n’ensibuko y’omugga Kiyira.

l Akapapula k’enkumi ettaano kaliko endegeya n’ekijjukizo kya Ssematalo ekiri ku Constitutional Square. l Akapapula ak’omutwalo kaliko ettooke, n’ekijjukizo ky’entandikwa y’enkulaakulana ekiri e Kyambogo. l Akapapula k’emitwalo ebiri kaliko ente n’ekijjukizo ky’emyaka 100 ekiri ku Centenary Park. l Ate akapapula k’emitwalo etaano kaliko ekizike n’ekijjukizo kya CHOGM ekiri ku Palamenti. Lukaaga yagambye nti baakola ssente zino n’ebintu ebyo byonna okulaga Uganda gy’evudde okutuuka w’eri kati. Yagasseeko nti, ssente zonnabazikola mu lupapula olw’enjawulo olutali luweweevu, lubeeramu engeri y’obukulubufu. Yagambye nti, ssente zonna baziteekamu omutwe gwa hhaali, nga mu hhaali, bataddemu omuwendo gwa ssente ate wansi w’eriiso, waliwo ekyeru.

Ssente okuva ku 1000/- okutuuka ku 5,000/-, zirina langi ekyuka okuva mu kiragala n’efuuka kitaka ng’ozikyusizza ate 10,000/- okutuuka ku 50,000/-, langi ekyuka n’eva mu kiragala n’efuuka bbulu wabula nga temalaayo, ekoma wakati n’eddamu n’ekyuka. Mu maaso ku ssente, layini ebeera nkutufu ate bw’ozikyusa emabega, layini ebeera nnamba. Mu layini eno, mulimu ekigambo BOU n’omuwendo gwa ssente mu mpandiika y’Ekiruumi nga ku bbali ziriko n’akabonero bamuzibe kwe basobola okutegeerera omuwendo gwa ssente.

Lukaaga yagambye nti, eyo y’engeri omuntu gy’asobola okwawulamu ssente entuufu ku nkyamu ng’akozesa engalo ze n’amaaso n’ategeeza nti, abakwata ssente ennyingi beetaaga okubeera n’obuuma obukebera. Piloya yagambye nti, kyetaaga bwetaazi muntu kumanya ssente z’ensi ye bwe zifaanana n’ebintu ebiziriko ebicupuli bijja kuba tebirina kifo mu bizinensi zaabwe.

TUKYALINA OBUZIBU KU B’EBICUPULI – POLIISI Aba bbanka Enkulu eya Uganda bagamba nti, okukwata abatambuza ebicupuli mulimu gwa poliisi n’ebitongole ebikuuma eddembe ebirala. Wabula Patrick Onyango amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti, bangi babakutte wabula bakyalina obuzibu.

Ebibonerezo ebiweebwa abakwatiddwa n’ebicupuli bitono, babasiba ebbanga ttono nnyo ne babata ne baddamu okubitambuza. Ekyuma ekikebera ebicupuli ekya bbanka Enkulu eya Uganda kiri kimu mu ggwanga lyonna ate kiri Mbale, we batwalira ebicupuli e Mbale okubikebera bakomewo e Kampala, essaawa 48 ziba zaaweddeko dda ng’omuntu balooya be babali bubi baagala ayimbulwe ku kakalu ka poliisi oba atwalibwe mu kkooti. Kayondo yasabye Gavumenti okwongeramu amaanyi ku bakwatibwa n’ebicupuli kubanga bizinensi zaabwe zifa.

wateekwa okubaawo omuntu munda abiwa abakuba ebicupuli. Kyokka, akola nga dayirekita avunaanyizibwa ku ssente mu bbanka Enkulu eya Uganda, Julie Piloya Okiror yagambye nti, ekyo si kituufu, lwe lugambo olutaliiko mutwe na magulu oluli mu bantu lwe beetaaga okuggya mu mitwe gyabwe. Okusinziira ku nsonda mu bbanka Enkulu eya Uganda , kkampuni y’Abangereza eya De La Rue, y’ekuba ssente za Uganda nti kyokka waliwo kkampuni endala nga nnya, ezeeyambisibwa oluusi. Tewali ngeri yonna muntu mu bbanka gy’asobola kuba nga yeenyigira mu kukuba ebicupuli okuggyako ng’ababikuba balina ngeri bwe baakwataganamu ne kkampuni ezo ebweru ezikuba ssente. Joseph Mugerwa eyatuusizza poliisi ku Namyenya yagambye nti, Poliisi ekintu ky’eriko kinene nnyo okusinga abaserikale bwe basuubira. Yagambye nti, waliwo ebibinja by’abagagga mu Kampala abaagufuula omulimu okukola ebicupuli. Mugerwa yagambye nti, ebicupuli bye bakubira e Uganda, omutindo gubeera mufu era abantu babibuuka mangu, bye bakubira e Kenya, bisobola okuyita wabula nabyo era abantu bamala ne babimanya n’agattako nti kati abasajja mu Kampala babiggya China. Yagambye nti, abasuubuzi abasinga mu Kampala abalina ssente ezeewuunyisa, basuubula bicupuli kuva China. “Batikkula kkonteyina nga wakati mu ngoye oba engatto mulimu ssente ze basibiddemu. Balina abantu baabwe mu URA ababayamba okuyisaawo ssente ezo nga tebazirabye,” Mugerwa bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, ssente ze bakubira e China, ne bw’abeera Gavana wa bbank a ya Uganda Enkulu, bazimuwa n’aziwa omulala nga tategedde nti bicupuli. Piloya yagasseeko nti, ebicupuli biri mu nsi yonna wabula kye basomesa abantu, y’engeri gye basobola okwawula ssente ku zitali ssente. OBUBONERO KWOYAWULIRA SSENTE ENFU KU NNAMU; Ssente za Uganda, bakakensa ba bbank Enkulu eya Uganda baaziyiiya nga zirina ebintu bingi ebizikuuma nga tezicupuddwa era guno gwe mulimu gwa bbanka Enkulu eya Uganda gw’esinga okuteekako essira. Ebimu ku bintu bino, babikyusakyusa okusinziira ku kiseera. Martin Lukaaga, akulira okuyiiyiza bbanka eno yagambye nti, ssente zirina emiteeko esatu, zirina ebyo abantu bye basobola okulaba, zirina ebyo ebisobola okulabibwa ebitongole by’ebyensimbi n’ebyo bbanka Enkulu eya Uganda bye yeesigaliza nga yo. Yagambye nti, buli lupapula, lulina ebintu eby’enjawulo okusinziira ku buwangwa bwa Uganda kw’osobola okulwawulira okugeza; l Akapapula ak’olukumi kaliko empeewo n’ensozi za Nyero ezisangibwa mu disitulikiti ye Ngora l Akapapula k’enkumi ebbiri, kaliko ekyennyanja n’ensibuko y’omugga Kiyira. l Akapapula k’enkumi ettaano kaliko endegeya n’ekijjukizo kya Ssematalo ekiri ku Constitutional Square. l Akapapula ak’omutwalo kaliko ettooke, n’ekijjukizo ky’entandikwa y’enkulaakulana ekiri e Kyambogo. l Akapapula k’emitwalo ebiri kaliko ente n’ekijjukizo ky’emyaka 100 ekiri ku Centenary Park. l Ate akapapula k’emitwalo etaano kaliko ekizike n’ekijjukizo kya CHOGM ekiri ku Palamenti. Lukaaga yagambye nti baakola ssente zino n’ebintu ebyo byonna okulaga Uganda gy’evudde okutuuka w’eri kati. Yagasseeko nti, ssente zonnabazikola mu lupapula olw’enjawulo olutali luweweevu, lubeeramu engeri y’obukulubufu. Yagambye nti, ssente zonna baziteekamu omutwe gwa hhaali, nga mu hhaali, bataddemu omuwendo gwa ssente ate wansi w’eriiso, waliwo ekyeru. Ssente okuva ku 1000/- okutuuka ku 5,000/-, zirina langi ekyuka okuva mu kiragala n’efuuka kitaka ng’ozikyusizza ate 10,000/- okutuuka ku 50,000/-, langi ekyuka n’eva mu kiragala n’efuuka bbulu wabula nga temalaayo, ekoma wakati n’eddamu n’ekyuka. Mu maaso ku ssente, layini ebeera nkutufu ate bw’ozikyusa emabega, layini ebeera nnamba. Mu layini eno, mulimu ekigambo BOU n’omuwendo gwa ssente mu mpandiika y’Ekiruumi nga ku bbali ziriko n’akabonero bamuzibe kwe basobola okutegeerera omuwendo gwa ssente. Lukaaga yagambye nti, eyo y’engeri omuntu gy’asobola okwawulamu ssente entuufu ku nkyamu ng’akozesa engalo ze n’amaaso n’ategeeza nti, abakwata ssente ennyingi beetaaga okubeera n’obuuma obukebera. Piloya yagambye nti, kyetaaga bwetaazi muntu kumanya ssente z’ensi ye bwe zifaanana n’ebintu ebiziriko ebicupuli bijja kuba tebirina kifo mu bizinensi zaabwe. TUKYALINA OBUZIBU KU B’EBICUPULI – POLIISI Aba bbanka Enkulu eya Uganda bagamba nti, okukwata abatambuza ebicupuli mulimu gwa poliisi n’ebitongole ebikuuma eddembe ebirala. Wabula Patrick Onyango amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti, bangi babakutte wabula bakyalina obuzibu. Ebibonerezo ebiweebwa abakwatiddwa n’ebicupuli bitono, babasiba ebbanga ttono nnyo ne babata ne baddamu okubitambuza. Ekyuma ekikebera ebicupuli ekya bbanka Enkulu eya Uganda kiri kimu mu ggwanga lyonna ate kiri Mbale, we batwalira ebicupuli e Mbale okubikebera bakomewo e Kampala, essaawa 48 ziba zaaweddeko dda ng’omuntu balooya be babali bubi baagala ayimbulwe ku kakalu ka poliisi oba atwalibwe mu kkooti. Kayondo yasabye Gavumenti okwongeramu amaanyi ku bakwatibwa n’ebicupuli kubanga bizinensi zaabwe zifa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...