TOP

Abasiraamu mwewale enjawukana - Dr. Ssemuddu

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2018

Abasiraamu mwewale enjawukana - Dr. Ssemuddu

Kit2 703x422

Ba Imaam b’emizikiti egiri ku luguudo lw’e Ntebe abeegattira mu kibiina kya Entebbe Road Imaam’s Association baweereddwa ettu ly’okubasiibulula mu mwezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan.

Ettu lyabaweereddwa Ambasada wa Uganda mu Saudi Arabia, Dr. Yahaya Rashid Ssemuddu n’ekitebe kya United Arab Emirates (Dubai) abaakiikiriddwa amyuka ambasada, Abdul rahim Obeid Al-falahi.

Omukolo gwabadde ku muzikiti gwa Masigid Noor Lweza Kayizzi, nga gwatandise n’okusomesa ba Imaam engeri ey’ekikugu gye bayinza okwagazisaamu abantu eddiini y’Obusiraamu. Dr. Ssemuddu yategeezezza nti baasazeewo okugabira ba Imaam kibasobozese okubeera abatebenkevu nga basaaza Abasiraamu mu kisiibo.

Yabakubiriza okwewala enjawukana kubanga ye mulabe asinga mu Musiraamu n’abakuutira okusooka okwekenneenya bye bagenda okusomesa Abasiraamu.

Akulira ba Imaam bano, Sheikh Swalleh Kiggundu, Imaam w’omuzikiti gw’e Nakasero n’omukubiriza, Sheikh Musa Ssebaggala Imaam w’omuzikiti gwa Taqwa e Lweza Kajjansi beebazizza ba Ambasada olw’ekikolwa kino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam