TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekifaananyi kya Kabaka n'ekyomuziro bikulu nnyo mu maka-Katikkiro Mayiga

Ekifaananyi kya Kabaka n'ekyomuziro bikulu nnyo mu maka-Katikkiro Mayiga

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2018

Ekifaananyi kya Kabaka n'ekyomuziro bikulu nnyo mu maka-Katikkiro Mayiga

Lwe1 703x422

Katikkiro ng'ayogera ku mukolo gw'ekijaguzo ky'amazaliba nga bazadde ba Noah Kiyimba e Lwengo

Bya Maria Nakyeyune
 
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde abantu ba Ssaabasajja mu buli maka okubeeramu ekifaananyi kya Kabaka ssaako ekifaananyi ekiraga omuziro gwabwe kiyambeko mu kuzimba abaana ku musingi ogwagala Buganda.
 inisita oag iyimba ngaogera ku mukolo gwa bazadde be e wengo Minisita Noag Kiyimba ng'aogera ku mukolo gwa bazadde be e Lwengo

Bino okubyogera abadde ku mukolo gw'okwebaza katonda olw'obulamu bw'omwami Francis Kukumba ne Maama Maria Nazziwa nga bano bazadde ba Taata wa Minisita w'ebyamawulire Noah Kiyimba ogubadde eKibaale mu Disitulikiti y'eLwengo.

Katikkiro ategeezezza nti ensangi zino abazadde basuddeyo ogwa nnaggamba mu kuweerera abaana n'okubalaga enjawulo y'eKirungi n'ekibi nga kino kiviiriddeko abaana okukula omuwawa n'okusiiwuuka empisa.

Omujaguza Francis Kukumba akwasizza Minisita Kiyimba engabo n'effumu ayongere amaanyi mu kuweereza Ssaabasajja n'obuganda.

Minisita Kiyimba alaze abazadde obukulu bw'okuweerera abaana nga kyokka kye kigenda okutuusa Buganda ku ntikko n'okukwanaganya Buganda ku bantu b'ebweru w'eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...