TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Kayanja akubye ebituli mu puliida Ladislaus Rwakafuuzi

Paasita Kayanja akubye ebituli mu puliida Ladislaus Rwakafuuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th May 2018

Paasita Kayanja akubye ebituli mu puliida Ladislaus Rwakafuuzi

Ka1 703x422

Musumba Kayanja

OMUSUMBA Robert Kayanja owa Rubaga Miracle Center Cathedral ayanukudde looya w’omu Kampala, Ladislaus Rwakafuuzi eyawandiise ebbaluwa n’agiteeka ku mikutu gya yintaneenti ng’amusaba okuwa embalira ku ssente z’abavubuka b’ekibiina kya Version 86 kye yatandikawo.

Ng’asinziira mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yayise ku kkanisa ye ku Lwokutaano, Kayanja yagambye nti, abadde awa Rwakafuzi ekitiibwa eky’amaanyi wabula amumazeemu amaanyi ku ngeri gye yeemazeemu ekitiibwa n’akola ebintu nga tabirinaako bwino.

Rwakafuzi yawandiise ebbaluwa, ng’ayagala Kayanja awe embalirira ku ssente obuwumbi butaano z’agamba nti yazikuhhaanya okuva mu bavubuka mu kibiina kye yatandikawo ekya Version 86 addize n’abavubuka abaamusabye ssente zaabwe.

Mu bbaluwa eno eya May 15, 2018, Rwakafuzi yategeezezza nti, wakati wa May ne December 2015, Kayanja yakuhhngaanya abavubuka n’abakolamu ebibinja bya bantu 10 buli kibinja n’abalagira okusasula 500,000/-. Kayanja bwe yabadde ayogera eri bannamawulire yagambye nti, takuhhaanyangako bavubuka kubaggyamu ssente, baatandika Version 86, okukuhhaanya abavubuka mu Uganda yonna abalina obulimu obutotono bwe bakola basobole okubongeramu amaanyi.

Yagambye nti, bwe baagenda okusisinkana omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi yabategeeza nti, talina ngeri gy’asobola kubawa ssente mu nteekateeka ya Gavumenti eya Youth Livelihood Program kubanga ssente zino, zaali za bavubuka abatalina mirimu abaagala okutandikawo obulimu.

Yagasseeko nti, baweebwa amagezi okugenda mu ‘Informal Sector’ era pulezidenti n’abasisinkana mu January wa 2016. Yagambye nti, abavubuka baali bangi kubanga baava mu bitundu bya Uganda byonna era ne babakolamu ebibinja by’abantu 10 buli muntu ng’asasula 50,000/- ez’okwewandiisa. Yagambye nti, ekibinja ky’abantu 10, baasasula nga 500,000/- era ssente zino ne ziterekebwa.

Mu ggwanga yonna, baafuna abavubuka 1,200,000 ne babakolamu ebibinja 1,148 . ku bibinja bino, 700 byokka bye byakkriza okusasula ate 443 ne bigaana. Yagasseeko nti, ebibinja 700 byasasula ssente 350,000,000/- wabula ssente ze baali bateekeddwa okufuna mu Gavumenti ne zirwawo okujja, ebimu ku bibinja ne bisalawo okuggyayo ssente zaabyo era okuva 2015 okutuuka kati, ebibinja 415 byatutte ssente zaabyo. Yagasseeko nti yeewuunya wa Rwakafuzi gye yaggye omuwendo gwa 5,000,000,000/- (Obuwumbi butaano) ze yatadde mu bbaluwa ye ng’alumiriza nti baaziggya ku bavubuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...