TOP

Bakansala b’e Kira bajeemedde poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 29th May 2018

Bakansala b’e Kira bajeemedde poliisi

Po1 703x422

BAKANSALA ba Kira Munisipaali 13, bagaanyi okukola sitetimenti ku poliisi y’e Kira Division ku musango Meeya Julius Mutebi Nsubuga gwe yaloopa ng’agamba nti mu kuyisa embalirira ya 2018/19 e Kirinnya mu kkanso mwalimu abasajja abajja n’ebijambiya n’emiggo n’ekigendererwa eky’okutuusa ku bantu obulabe. Abana bo bakkiriza ne bakola sitetimenti.

Nga April 4, omwaka guno, Meeya Julius Mutebi Nsubuga yayita olukiiko lw’ebyokwerinda ku Munisipaali e Kira olwetabwamu RDC w’e Kasangati, Hajirah Namagogwe, n’ayanjula ensonga eno era n’alagira bakansala abaali mu lukiiko okukola sitetimenti nga bannyonnyola ebyaliwo.

Kansala David Ssekiziyivu Muya yategeezezza nti, abadde tamanyi kigenda mu maaso era yeewuunyizza Town Clerk Ambrose Ocen okumukubira essimu ng’amuyita ne bakansala abalala ne babalagira okukola sitetimenti ku poliisi ku nsonga eno. Prossy Nakanywagi kansala omukyala akiikirira Kireka ku Munisipaali yategeezezza nti, olukiiko yalutegeera mu kyama n’agendayo.

Bwe yawanika omukono okubaako ky’ateesa ne bamugaana ate yeewuunyizza okulaba omuntu gwe bataayita nga bamunoonya okukola sitetimenti. Kansala Ahmed Bbaale akiikirira omuluka gwe kimwanyi ku Munisipaali yagambye nti talina buzibu na kukola sitetimenti, ajja kwogera kye yalaba kyokka banne bakyagaanyi.

Sipiika wa Kira Frank Ssemukuye, yagambye nti, poliisi okumugaana okukola sitetimenti kyokka ne bakkiriza bakansala abalala ng’ate ye yali akubiriza olukiiko tekigenda kukkirizibwa.

Yagambye nti poliisi ng’ekulemberwa atwala poliisi y’e Kirinnya ASP Celestine Nyonzima be baakebera abaali bayingira nga mwalimu n’akulira obutebenkevu mu Divizoni y’e Bweyogerere Magiidu Mukasa ate emmundu, ebiso n’emiggo byayita wa? Eyaloopa asaana afune ensonga gye yeekwasa kubanga n’embalirira yayisibwa bulungi.

RDC w’e Kasangati, Hajirah Namagogwe yagambye nti yafuna okwemulugunya okuva ewa Meeya Julius Mutebi Nsubuga nti waaliwo abantu abakyamu abaayingira mu kkanso eyali eyisa embalirira e Kirinnya nga balina emmundu n’emiggo. Bwe yabuuza atwala poliisi y’e Kirinnya annyonnyole mu lukiiko lw’ebyokwerinda ekyaliwo, n’agamba nti talina kye yalaba.

Nasalawo buli ayali akwatibwako ensonga eno Meeya gye yaleeta mu lukiiko akole sitetimenti ku poliisi kubanga ebyokwerinda buli nsonga ereetebwa tetwalibwa nga kasongasonga.

Meeya Julius Mutebi Nsubuga yagambye nti omusango gwe yaloopa ku poliisi yagambye nti yeekengera embeera eyaliwo mu kkanso n’ategeeza ssentebe w’ebyokwerinda mu Kira era n’asalawo ensonga azikwase abamusingako banoonyereze. “Eky’okuyita bakansala bakole sitetimenti teyakitegeddeko naye kirabika kusalawo kwa poliisi”, bwe yategeezezza.

Bakansala abeesaze akajegere ye, Leocadia Nantale Malagala, Nakanywagi Prossy, Siraje Ssembuuze, Ahmed Bbaale, Cissy Nakanywagi, Fred Kibira , Salmah Nakayiwa , David Ssekiziyivu Muya, Frank Ssemukuye, Mariam Shibah Namuddu akiikirira Bweyogerere ne Eiru Andrew ow’e Bweyogerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...