TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalwana mu ssematalo batiisizza okukuba Gavumenti ya Bungereza mu mbuga

Abaalwana mu ssematalo batiisizza okukuba Gavumenti ya Bungereza mu mbuga

By Deo Ganyana

Added 29th May 2018

Abaalwana mu ssematalo batiisizza okukuba Gavumenti ya Bungereza mu mbuga

Wa1 703x422

Abaazirwanako nga bali mu lukiiko

BANNAYUGANDA  Abazira abalwana mu Ssematalo ow’okubiri nga bali ku ludda lwa Bungereza batiisizza okukuba Gavumenti ya Bungereza mu Mbunga olw’okulemererwa okusasula  akasiimo kaabwe kebabasuubiza okuva olutalo bwe lwaggwa mu mwaka gwa 1945.

Bano mu lukiiko lwebakubye ku Kyalo Kiwenda ku luguudo lwe Gayaza mu disitulikiti ye Wakiso bategeezezza nti abangereza babawamba nga bakyali bavubuka era ne babakaka okuyingira olutalo nga balwanira ku ludda lwabwe nga tebasasulwa kubanga mu kiseera ekyo Uganda gaali matwale ga Bungereza kyokka olutalo bwe lwaggwa ne babasuubiza okubasiima mu ngeri ey'enjawulo nga n’okutuusa kati  tewali kyebaali balabye.

 

 

Abaazirwanako bano nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Bainomugisha and Company Adivocate bategeezezza nga bwebamaze okubaga ekiwandiiko ekigenda okuweebwa Nnabakyala wa Bungereza era essaawa yonna kimutuukako kubanga ensonga eno egimanyi bulungi era betaaga bweetaazi kumujjukiza nti abantu beyasuubizza bakyaliyo balamu kubanga ayinza okulowooza nti baafa olwo balyoke bagende mu kooti ng’omuntu gwebavunaana akimanyi buluungi .

Bano era  belonzeemu  akakiiko nga kakulirwa muzeeyi Eriyabu Kavuma nga bonna balwana era nga kekagenda okukiikirira banaabwe abalala omuli n’abaafa okubanja ssente zino .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi