TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abeebijambiya basudde ekibaluwa e Mutundwe ne basaba nnyinimu obukadde 100

Abeebijambiya basudde ekibaluwa e Mutundwe ne basaba nnyinimu obukadde 100

By Joseph Mutebi

Added 30th May 2018

ABATEMU abeeyise abeebijambiya basudde ebibaluwa mu maka ga Vincent Kyambadde e Mutundwe mu Munisipaali y’e Lubaga nga bamulaalika okutta mukyala we n’omwana singa tabawa obukadde 100, basobole okugabana ku bugagga bwe.

Mutunddwebyjmutebi1 703x422

Nagaddya ng’asitudde omwana we mu maka we baasudde ekibaluwa.

Ekibaluwa kyabadde kisoma nti, “Mwami Kyambadde tukulamusiza nnyo ssebo, tukutegeeza nti, naffe tulina okugabaana ku bugagga bwo, ebbaluwa eno tugikuwandiikidde ne tukuwa ennaku ssatu zokka okuva ku Lwokutaano nga May 25, 2018 okutuuka nga May 28, 2018 okuba ng’otuwadde ssente. Singa kigaana tugenda kutema mukyala wo n’omwana tubasse mu kiveera. Ensonga zino zitwale nga nkulu era tobuulira poliisi, amagye wadde bannamawulire nga bw’obabuulira naawe tujja kutema tukusse mu kiveera kye kimu ne famire yo. Kuno si kulabula wabula tukutegeeza nga bagagga bano”.

Docus Nagaddya mukyala wa Kyambadde ekibaluwa yakiwadde poliisi y’e Katwe n’agamba nti bba ye yasoose okulaba ekibaluwa kino nga yaakazuukuka ku makya nga baakitadde mu munyolo oguyingira mu nnyumba.

Nagaddya yagambye nti, mweraliikirivu nti bayinza okubatta kubanga akimanyi nti waliwo omuntu abali okumpi eyategeera nga, bba bwe yafuna omulimu mu kkampuni emu mu South Sudan ne babasasula ssente kyokka zonna ne ziggwaawo kyokka nga bano balowooza nti bakyazirina.

 kibaliwa kye baasudde Ekibaliwa kye baasudde

 

N’agamba nti embeera gye balimu ebeeraliikiriza wadde babagaanyi okutegeeza poliisi baasazeewo okubabuulira ne baggulawo omusango ku fayiro nnamba SD/76/28/05/2018 nga poliisi enoonya abaawandiise ekibaluwa kino.

Abatuuze bwe baawulidde nti waliwo ekibaluwa ekyasuuliddwa mu maka ga munnaabwe ne basattira nga bagamba nti babadde babiwulira mu kitundu ky’e Masaka nga n’abantu battibwa nga kati bibasemberedde.

Baasabye poliisi okukola okunoonyereza kwayo okuzuula abaabisudde n’okubavunaana omuze guleme kweyongera mu kitundu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo