TOP

Abakugu bawadde alipoota ku kookolo wa nnabaana

By Joseph Mutebi

Added 30th May 2018

Abakugu bawadde alipoota ku kookolo wa nnabaana

Kip4 703x422

ABAKUGU  mu byobulamu  bategezzezza nga obulwadde bwa kookolo w’omumwa gwa nabaana bweyeyongedde  mu bakyala ng’entabwe eva ku bakyala kwesuliraayo gwa nagamba okugemesa abaana baabwe nabo okwekebeza.
 
“Okusooka gavumenti bwe yali yakatandikawo kampeyini z’okulwanyisa obulwadde bwa kokolo mu bakyala  ng’eyita mu kugema abawala abakyali abato okuva ku myaka 9 – okutuuka ku 13, kaweefube ono bamujjumbira nnyo ng’abawala ebitundu 50 ku 70 ku buli 100.
Bagemebwa wabula kati bakenderedde ddala okutuukira ddala ku bitundu 20 ku buli 100” Bwatyo Dr Nolep Mugisha akulira okulwanyisa kookolo ono  mu ddwaliro ly’e Mulago bwategeezezza.
 
Bino Mugisha abyogeredde mu musomo ab’ekibiina kya “Uganda Women’s Cancer Support organization” ogutegekeddwa ku EUREKA Hotel e Ntinda ogwokumala ennaku bbiri okuva ku Lwokusatu okutuuka ku Lwokuna era nga gwetabiddwamu abakugu okuva mu Cancer Institute e Mulago, aba minisitule y’e byobulamu, aba UNICEF n’ebitongole byobwa nakyewa ebirala.
 
Dr Mugisha agambye nti akawuka akaleeta kookolo ono kalina eddagala era gavumenti yaleetawo ne nkola y’okugema abawala abali ku myaka 10 okulamba nga ne bwebabeera bakuze akawuka kano ne kabakwata omubiri gwabwe gusobola okukalwanyisa lwakuba ennaku zino bannyuganda tebajjumbidde nga bwe kyali mu kusooka ekireese kookolo ono okweyongera.
 
Awadde abakyala abatandise okwegatta okujjumbira ennyo okugenda okwekebeza kookolo ono kubanga bwekabeera kakakukwata n’okamanya ne bakujanjjaba osobola okuwonera ddala.
 
Ekirala alabudde abakyala okwewala okuganzibwa abasajja abangi kubanga bwoyagala abasajja abawera 20 kizibu nnyo okubavaako nga tebakusiize kookolo ono. Kubanga omusajja bwagya akawuka kano ku mukyala akalina ye tekamukoosa ate ng’asigala akalina nakasiiga omulala.
 
Mu ngeri y’emu na bafumbo abagenda okubutandiika babasabye baleme kwekebeza siriimu yekka wabula bajjumbire n’okwekebeza kookolo wa kkansa wa n'abaana kubanga yasinga mu kiseera kino okutta abakyala mu Uganda ne mu nsi ezikyakula.
           
Dr Mugisha agambye nti ku buli bakyala bannayuganda 100,000. Abakyala 50, beebalina obulwadde bwa kkansa ng’ate kubo 80 ku buli 100 bagenda okubuzuula mu malwaliro nga bayitako dda nga bakozesa eddagala eganda.
 
Ye muky Getrude Nakigudde akulira ekibiina kya “Uganda Women’s Cancer Support Organization”  omusomo guno n’abakugu abagwetabyemu okusaala amagezi ngeri ki enesimbu gye tusobola  okutuusa ku bakyala obubaka bategere nti kkokolo ono wabula be era asana kulwanyisa.
 
Joseph Mujulizi owa “Friends Crew Africa” agambye nti bo kookolo ono bagenda ku mulwanyisa nga bayita munnyimba nga bulijjo basobole okutuusa obubaka buno ku bantu baabulijjo abatatera kwettanira nnyo kusoma butabo namawulire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...