TOP

Aba boda boda basiiwuuse empisa mu mumusomo

By Joseph Mutebi

Added 30th May 2018

Aba boda boda basiiwuuse empisa mu mumusomo

Jip1 703x422

ABAVUBUKA ba boda boda abasoba mu 1000,  basiwuuse empisa bwe babadde  bayitiddwa okusomesebwa engeri gye bayinza okwongera okuterezamu ebyenfuna yaabwe  ababayise bwe basoose okudda muku baabulira enjiri.

“Ffe bassebo tetwaze wano kudda mu kutukuba njiri twagala kimu kigambo kyakutusomesa ngeri ki gye tuyinza okwongera okutereza ebyenfuna yaffe okugatta ku ssente ze tugya mu boda so sikudda mu kutukuba njiri ya balokole ng’abamu kuffe tuli nabasiraamu abasiibye” Bwe batyo aba boda bwebategeezezza.

Bino byabaddewo ku Lwokubbiri  mu  musomo ogwategekeddwa aba “Development Channel” ekikulirwa omugagga Omunigeria Charles Lambert,  ku Freedom City mu Kampala .

Omusomo guno gwetabiddwamu aba boda boda n’abakyala abazaala abaana nga tebali mu bufumbo nga babayigiriza engeri gye balina okwekuuma nga batambula ne tekinologiya ow’omulembe nga bakozesa kompyuta z’omu ngalo eziringa amassimu.

Omwogezi w’ekibiina kino Tom Maraba yagambye nti abakyala bano n’abavuzi ba boda baabawadde amagezi okwenyigira mu kutunda kompyuta zino babaweko enjawulo ng’ate nabo bwebazikozesa kibayambe okwekuumira ku mulembe.

Yagambye nti mu Uganda balina abaana abagezi ku yunivasite y’e Makerere abagenda okwongera ebirungo mu kompyuta zino nga tekinologiya wa “Apps” tukozesa waawano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA