TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasuubiza abantu emirimu gy'okukuba ekyeyo atuuyanidde ku Poliisi: 'Mukubire maama atunde ku ttaka ly'e Matungulu munte'

Eyasuubiza abantu emirimu gy'okukuba ekyeyo atuuyanidde ku Poliisi: 'Mukubire maama atunde ku ttaka ly'e Matungulu munte'

By Moses Lemisa

Added 30th May 2018

OMUSAJJA aludde ng'anoonyezebwa poliisi ya CPS ku misango gy'okusuubiza abantu emirimu egitaliiyo ate ng'abalyako ssente bamukwatidde ku Kaleerwe.

What 703x422

Ssekandi nga yeetondera Nabukenya (ku kkono).

Meddie Ssekandi 34, ow'e Ziroobwe aludde ng’anoonyezebwa poliisi ya CPS ku misango gy’okuggya ku bantu ssente ng’abalimbye okubafunira emirimu mu America, Canada, Bungereza n'amawanga amalala.

Rahmah Nabukenya 26, omutuuze w'e Kazo mu Munisipaali y'e Kawempe y'omu ku balumiriza Ssekandi nti, mu June wa 2017 Ssekandi yagenda mu ofiisi ya bba mu kibuga n’abategeeza nga bw’afunira abantu emirimu ebweru w'eggwanga.

Yagasseeko nti baakwatagana n'amuwa ssente 3,000,000/- okumufunira omulimu e Canada.

Yayongeddeko nti Ssekandi yalina ofiisi ku kizimbe kya Namaganda mu Kampala wabula okuva olwe yamuwa ssente abadde takyabeera mu ofiisi ne paasipooti gye yamuggyako yagiwa muntu mulala okugimuddiza.

Nabukenya yagambye nti, bwe yakitegeera nti, bamubbye n'aggula ku Ssekandi omusango ku poliisi ya CPS ku fayiro nnamba SD:16/25/10/2017.

Wabula ku Mmande alina mukwano gwe eyamutemezzaako nga bw'aludde ng’alaba Ssekandi ku Kaleerwe ng’amanyi ne w'alya emmere.

Yakolaganye n'abaserikale ne bamukwata n'atwalibwa ku poliisi y'omu Kibe we yaggyiddwa n'atwalibwa ku CPS.

Ssekandi yakkirizza nti Nabukenya yamuwa ssente 3,000,000/- naye okuva lwe yazimuwa yafunamu obuzibu.

“Abammanja sibeegaana naye essaawa eno sirina ssente mpozzi bakubire maama wange atunde ku ttaka eriri e Matungulu kubanga ye tasobola kunvaamu.

Nze siri mufere naye bizibu bya nsi kuba mu kusooka nafuniranga abantu emirimu mu nsi ezo", Ssekandi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo