TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ebinazi okuwonya emmeeme ya wansi n'ensundo

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ebinazi okuwonya emmeeme ya wansi n'ensundo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2018

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ebinazi okuwonya emmeeme ya wansi n'ensundo

Jul3 703x422

ABANTU batera okugendako ku bbiici okucakala, batuulako wansi w’emiti eggyefaananyirizaako ekisansa okubeera ebibala ebiringa amapapaali era we giba walabika bulungi n’okusanyusa.

Gino bagiyita ‘binazi’ era edda bajjajjaffe baagisimbanga ne baasa ebibala ebyo okunywa amazzi agaabayambanga okufuna eminnyo mu mibiri n’ebirungo ebizimba obutoffaali bw’omubiri.

Teebakomanga awo, baalyanga n’ekimere ekyeru ekibeera munda. Ddaaki baabikoona ne bakolamu ennazi eyacaaka mu gya 1970 olw’abantu abaatambulanga n’omulembe okumukozesa mu nviiri okuzinyiriza, obutakutuka nga bazikuza n’obutalumwa nsekere.

Naye emigaso gya butto ava mu binazi tegikomanga, era omuntu amukozesa amuyamba bino; lAbalumwa enjala buli kiseera ne kibaviraako okulya ennyo ate ne bafuna omugejjo oguvaako endwadde ezitali zimu. Buli lw’owulira ng’oyagala okulya ng’essaawa z’eky’emisana tezinnatuuka osobola okunywa ku butto ono n’obeera bulungi. lAgwa ebigwo amuyamba, alina ekirungo ekiyamba obutoffaali bw’obwongo okufuna amaanyi n’emmere.

Oluusi omubiri gulwawo okubuwa ssukaali oba gulukosi ekireetera omuntu okuggwaamu amaanyi n’agwa ebigwo. lAkola ku muntu atera okuwungawunga n’abawulira kamunguluze. Kuba ayamba omusaayi okutambula okugenda ku bwongo. lAkola ku mannyo agalimu ebituli anti atta obuwuka obugalya n’akuyamba n’obutawunya kamwa. Omunyumunguza mu kamwa buli ku makya.

lButto w’ebinazi anuuna obutwa mu lubuto n’akkakkanya obulumi kw’alumizibwa olubuto. lAbakyala abasiiyibwa mu bitundu by’ekyama, Bannabukalu oyisaayo butto n’aziyiza yinfekisoni. lOsobola okumukozesa nga ebizigo okusiiga abaana n’abantu abakulu ne batasiiwuuka n’obutafuukuka nsusu.

Azimba obwongo omuntu n’aba nga teyeerabiralabira. lAlina situka naawe mukozese mu nviiri, zirabike bulungi ate nga tezikutuka ne bw’oba ozisumuludde. lAyamba ku bantu abalwadde b’eddookooli n’abakala emimwa.

Omugatta n’omunnyo gw’ekisula n’osenya amannyo ne gatukula bulungi. lButto w’ebinazi bw’omugatta n’ekizimbulukusa n’oyisa mu nkwawa tezijja kutuyaana ate azimalamu akasu.

Akola ku nkyakya, abakyala abaagala okukuza obukoowekoowe n’ekisige naawe mwesiige.

Osobola okumukozesa mu kufumba kubanga talina masavu mabi.

Enjuki gw’erumye n’alina emmeeme eya wansi mukozese.

Ayamba ku bantu abatawulira bulungi n’abeerumika.

Ssinga omugatta n’olusennyente ne magadi, osobola okumukolamu eddagala ly’engatto. lAbalina olususu olufudde n’ensundo butto ono abayamba.

Ayamba okuggya obutwa mu kibumba ne ku baana abalumwa obwoka. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.