TOP

Ssebuufu byongedde okumwonoonekera

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2018

Ssebuufu byongedde okumwonoonekera

Kip2 703x422

Ssebuufu ne Donah Katushabe kati omugenzi

OMUJULIZI owa 22 mu musango gw’okutta omusuubuzi Donah Katusabe alaze kkooti amasimu Muhamad Ssebuufu ge yakubira abanene mu poliisi ku lunaku omugenzi lwe yattibwa. Mu be yakubira kuliko eyali aduumira CPS, Aaron Baguma.

Omujulizi ye Detective Cpl Brian Magoola omukugu mu kulondoola n’okulumika amasimu. Eggulo, yalaze omulamuzi lipoota eraga olukalala lw’amasimu Ssebuufu ne Baguma ge beekubira nga October 21, 2015.

Ku olwo Katusabe lwe yattibwa. Baguma yasooka kuvunaanibwa wamu ne Ssebuufu kyokka omusango bwe gwatandika okuwulirwa omuwaabi wa Gavumenti n’ayimiriza okuvunaana Baguma ng’agamba nti tewali bujulizi bumala kumuluma.

Omusango guwulirwa Omulamuzi wa kkooti enkulu Anglin Ssenoga. Ssebuufu eyabadde mu kaguli, avunaanibwa ne bakanyama be musanvu okuli; Paul Tasingika, Phillip Mirambe, Steven Lwanga, Shaban Odutu, Yoweri Kitayimbwa ne Damaseni Ssentongo. Kigambibwa nti batta Katusabe lwa ssente obukadde 9, Ssebuufu ze yali amubanja ku mmotoka gye yamuguliza ku kibanda kya Pine ku Lumumba Avenue e Nakasero. Omusango gwatandika okuwulirwa nga February 5, 2018.

Oludda oluwaabi lwakaleeta abajulizi 22, n’ebizibiti okuli emmotoka UAP 155T eyakozesebwa okuwamba Katusabe. Ekizibiti ekirala kya musaayi ogwamuvaamu nga bamukuba. Magoola, mukugu mu kulondoola amasimu ku kitebe kya poliisi e Naggulu.

Yagambye nti nga October 21, 2015 ku ssaawa 3 ez’ekiro, Ssebuufu yakubira Baguma era kirabika yali atambula kubanga essimu ye yakwatibwa emirongooti egy’enjawulo omuli ogw’oku Lumumba Avenue, Aha Towers ne Mulago.

Ku ssaawa 5:00 ez’ekiro Baguma yakubira Ssebuufu ne boogera era n’addamu okumukubira ku ssaawa 5:41 nga Baguma ali mu bitundu bya Hotel Africana n’e Kololo. Ekiro ekyo Katusabe lwe yattibwa. Mu balala Ssebuufu beyakubira kuliko; Sam Kiwanuka amanyiddwa nga “Damage” nga naye mutunzi wa mmotoka.

Magoola yagambye: Oweekitiibwa omulamuzi, okusinziira ku bye nnazuula, Baguma ne Ssebuufu baali mu mpuliziganya kubanga beekubira amasimu emirundi mingi ku lunaku Katusabe lwe yattibwa. Kyokka yagambye nti bye baayogera tabimanyi kubanga ye yali alondoola masimu ge baakuba n’ebifo mwe baali.

Ebikwatagana ne bye baayogera tabimanyi. Kigambibwa nti Katusabe yawambibwa Ssebuufu okuva mu maka ge, e Bwebajja ku ssaawa nga 8:00 emisana n’atwalibwa ku kibanda kya Ssebuufu ku Pine gye yakubibwa. Poliisi yagenda okumutaasa, yasanga aliko kikuba mukono n’afi ira mu ddwaaliro e Mulago ku ssaawa 2:00 ez’ekiro nga baakamutuusaayo.

Omulamuzi yakkirizza lipooti ya Magoola era egenda kukozesebwa ng’obujulizi bw’anaaba asala omusango. Omujulizi omulala yali omukugu wa poliisi mu kusoma ebinkumu, Pius Caningom eyalaga omusaayi poliisi gwe yasanga mu mmotokaeyakozesebwa mu kuwamba Katusabe.

Omusaayi gwali mu mutto gw’emabega era omukugu wa Gavumenti Geoffrey Onen eyakebera omusaayi guno yakakasa nti gwa Katusabe. Ate omuserikale Francis Amanzuruku eyaggya Katusabe ku Pine we baamukubira yategeeza kkooti nti yagenda okumutuukako ng’ebigambo abiggya wala.

Yali akubiddwa ng’alina ebiwundu ku mikono n’amagulu nga bivaamu omusaayi mungi. Ate omuserikale Specioza Nyanzi eyakozesebwa okukima Katusabe e Bwebajja yagamba nti Katusabe yamutuusiza ku Pine n’amuleka mu ofi isi ya Ssebuufu akawungeezi kyokka enkeera ne bamutegeeza nti yali attiddwa.

Ssebuufu avunaanibwa ava bweru. Mu kkomera yamalayo emyezi 11, ne yeeyimirirwa Tamale Mirundi ne Sheikh Nuhu Muzaata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi