TOP

Bayiye abaserikale 10,000 e Namugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2018

Bayiye abaserikale 10,000 e Namugongo

Tip2 703x422

Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano ,Moses Kafeero ( ku kkono) akulira poliisi y’ebidduka Norman Musinga ne Wyclif Musinguzi akulira enteekateeka mu Bakristaayo e Namugongo.

ABASERIKALE abasoba mu 10,000, bayiiriddwa e Namugongo okunyweza ebyokwerinda n’okwongera okugumya abalamazi nti, teri ayinza kubatuusaako bulabe nga bali mu kutendereza. Bano baakunyweza ebyokwerinda ku biggwa by’abajulizi eky’Abasiraamu, Abakristaayo n’Abakatoliki e Namugongo wamu n’ebitundu ebiriraanyewo. Abagenda okukuuma tebali mu yunifoomu mwokka wabula waliwo n’abali mu leeya. Mu bwengula waakubaayo ennyonyi ezirawuna.

Abasiraamu bajja kuba n’emikolo gy’okujjukira abajulizi baabwe nga June 1, okusinziira ku Hajji Sulaiman Musana, akulira enteekateeka zino. Bagenda kuyita mu byafaayo by’eddiini era bagenda kukulizaako emyaka 45 bukya ekibiina kya UMSC kitandikibwawo. Abasiraamu battibwa ku biragiro bya Ssekabaka Muteesa 1.

Abalamazi abaakatuuka baavudde e Congo, Eritrea era ng’abalala basuubirwa okuva mu Bugirimaani, South Afrika , Amerika , Kenya, Tanzania, Nigeria n’amawanga amalala. Minisita w’eggwanga ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda yategeezezza nti, basuubira abalamazi obukadde nga busatu.

Abeebyokwerinda abaayiiriddwa e Namugongo kuliko abapoliisi abategulula bbomu, embwa eziwunyiriza bbomu, ab’ebidduka, abazikiriza omuliro, abaketta ebiri ewala n’abagenda okukebera abayingira.

Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Moses Kafeero yasabye abalamazi okukuuma ebintu byabwe. Yawadde abazadde amagezi abaana abato babaleke waka era abatambudde nabo babakuume butiribiri.

N’agamba nti omwaka oguwedde abaana 100 baabula ku bazadde baabwe ng’abaana abanaayingira bajja kubassaako akapapula akaliko nnamba z’essimu z’abazadde baabwe okwanguwa okubazuula nga babuze. BALAZE AMAKUBO AG’OKUKOZESA Aduumira poliisi y’ebidduka Norman Musinga yawadde ebiragiro by’okugoberera ab’ebidduka nga tewali mmotoka egenda kukkirizibwa kutuuka ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo ne Nakiyanja okuggyako ng’eweereddwa sitiika.

Emmotoka z’abakungu ezigenda ku kiggwa ky’Abakatoliki zigenda kubeerako sitiika mmyuufu nga zaakuyingirira Kyaliwajjala, Ssemmambo Road zisimbe ku Namugongo Boarding Primary School. Abagenda mu Bakristaayo mmotoka zirina okubaako sitiika mmyuufu nga zaakuyita Bweyogerere – Bbuto zisimbe ku kisaawe ky’ekkanisa. Abalamazi abava ebweru Abakatoliki emmotoka zaabwe zijja kubaako sitiika za bbulu era zijja kubassa Kyaliwajjala zisimbibwe ku Vienna College, batambuze bigere okutuuka e Namugongo.

Abalamazi ab’omu bitundu nga Ntinda, Bwaise n’abagenda okuyitira ku Northern Bypass bajja kusimba ku Hill Side Nursery and Primary School ne St. Peters Naalya. Abava ku ludda lw’e Kasangati bajja kusimba ku kisaawe ky’omupiira ekya Kira Munisipaali ne mu bimuli bya Meeya w’e Kira. Abalamazi abava e Bugwanjuba nga bagenda e Nakiyanja bajja kuyitira Seeta, Ssonde ne Bweyogerere – Bbuto era ku kkubo kujja kubaako abaserikale ababalagirira ng’emmotoka baakuzireka ku faamu y’ekkanisa ne ku All Sisters Parking e Namugongo.

Kyokka waliwo bbaasi ezigenda okusimba e Kira ku Munisipaali ne ku kisaawe kya Kira nga zaakuyita ku Mamerito – Kironde Road zisembeze abalamazi abagenda e Nakiyanja okutuuka poliisi w’enaazikomya.

Kyokka bbaasi zaakusasulira. Abalamazi Abakatoliki aabakozesa mu mmotoka za lukale baakussibwa Kyaliwajjala batambuze ebigere okutuuka e Namugongo ku Klezia. Abalamazi bajja kutambulira ku ludda olwa kkono nga bagenda e Namugongo ate olwa ddyo luyiteko abakungu.

Abava okulamaga ku Klezia emmotoka bajja kuzirinnyira Kyaliwajjala. Eggulo we bwazibidde ng’abalamazi beeyongera okutuuka. Ku kiggwa ky’Abakatoliki abalamazi abaabade baakatuuka kuliko abaavudde mu ssaza ly’e Tororo nga bano be bategesi, abaavudde e Kanungu, Hoima, Ankole n’awalala.

Akulira ebyobulamu mu Munisipaali y’e Kira, Charles Mupere yagambye nti bataddewo ensiisira z’ebyobulamu ku biggwa byombi omuli abasawo abakugu. Era waliwo ne ambyulensi ez’okutwala abali obubi mu malwaliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo