TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebivaako abaana okuzaalibwa n’ebituli ku mitima

Ebivaako abaana okuzaalibwa n’ebituli ku mitima

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2018

Ebivaako abaana okuzaalibwa n’ebituli ku mitima

Heb1 703x422

Okuliisa omwana obulungi kimuyamba obutalumbibwa ndwadde ya mutima.

Abafumbo Innocent Ayebare ne mukyala we Christine Namutebi abatuuze b’e Kyaliwajjala Namugongo mu disitulikiti y’e Wakiso baazaala omwana waabwe asooka Moris Atumwine mu ddwaaliro e Gomba ng’abasawo balaba mulamu era ne babasiibula.

Wabula oluvannyuma lw’okuweza omwezi gumu, omubiri gwatandika okwokya ennyo, nga tasobola kwebaka ng’omuvuunise, n’atandika n’okuddukana wamma ne basoberwa. “Twasooka kulowooza nti musujja gw’eyaabwe era ne tugula ssirapu, n’afunamu akalembereza kyokka waayita akaseera katono embeera ne yeeyongera okusajjuka.

Twamuddusa mu ddwaaliro e Naggulu era abasawo bwe baamwekebejja ne batusindika e Mulago mu balwadde b’emitima nga bakizudde nti omutima gwe guliko ebituli bibiri nga kitwetaagisa obukadde obusoba mu 30 okulongoosebwa. Ono y’omu ku baana abazuuliddwa n’ebituli ku mitima.

Biraze ku P 14DR.Apollo Ahimbisibwe annyonnyola nti omutima ye yingini y’obulamu bw’omuntu era kye kitundu ekivunaanyizibwa ku kutambuza omusaayi mu mubiri, ebiriisa okuva mu mmere omuntu gy’alya, omukka gwe tussa ate n’okusengejja obucaafu. Omwana okuba n’ekituli oba ebituli ku mutima kiva ku nsonga nnyingi. Obulwadde bw’ebituli ku mitima mu baana bwa bika bibiri , waliwo obuzaale ne bwe bafuna nga basuumuseemu wakati w’emyaka etaano ne 15.

1.Obulwadde bw’omutima abaana bwe bazaalibwa nabwo; Omutima gulina ebisenge bina era nga mu makkati mulimu ekikomera ekibyawula okukakasa nti omusaayi ku luuyi lwa kkono tegwegatta na guli ku ddyo Wabula ekituli kiyinza okubeera mu kisenge ekya waggulu oba ekya wansi ekitaataaganya enkola y’omutima. Ebivaako abaana okuzaalibwa n’ebituli ku mitima

1. Oluusi obulwadde buno buyinza okuva mu kika nga butambulira mu musaayi.

2. Ekirala ssinga maama akozesa ebitamiiza ng’ali lubuto omuli enjaga, omwenge, ssigala , amayirungi n’ebirala. 3. Ssinga maama akozesa eddagala ery’amaanyi ng’ali lubuto naddala ng’omwana akyetonda. Eddagala omuli erya kookolo, n’eddala lisaabulula omusaayi. Kw’olabira Omwana alina ekituli • Obusongezo bw’engalo buzimba. • Abeera atuuyana nnyo naddala ng’ayonka. • Assiza kumukumu • Abeera ayokya nnyo ate ng’akoowa mangu.

• Emimwa gye n’olulimi bifuuka biddugavu oba nga bya kakobe kuba tafuna mpewo nnungi emala omubiri . • Abeera akema buli kiseera ate ng’assa obubi n’okukubwa entunnunsi. • Akona kuba takula bulungi ng’omwana omulamu bw’abeera.

• Tasobola kwebaka kyabugazi.

• Omwana omuto abeera akaabakaaba, afuna omusujja ogw’olutentezi,

2. Obulwadde bw’omutima abaana bwe bafuna nga bamaze okuzaalibwa Abaana naddala abasoma abali wakati w’emyaka etaano ne 15 batera okulwala emitima olw’obuwuka obusaasaanyizibwa obucaafu obuyitibwa “Streptococcus “. Butandika na kulumizibwa mu mimiro , omusujja n’obulumi mu nnyingo.

  1. Endwadde z’amannyo n’emimiro; Olw’okuba amannyo gakwatagana n’emisuwa egitambuza omusaayi , kino kivaako obuwuka okuyingira mu musaayi ne bulya obuggi bw’omutima ne gulwala.
  2. Ekituli kiziba kitya? Abaana abamu bazaalibwa n’ekituli ku mutima naye ne kiziba awatali bujjanjabi bwonna wabula kino kisinziira ku bunene bwakyo .
  3. Wabula mu bamu, tekiziba era bano bateekebwa ku bujjanjabi nga bwe babeetegereza okumala ekiseera.
  4. Mu kiseera ekyo babeera bapima obugazi bw’ekituli. Ssinga ekituli kigenda kiziba obubonero bwabeera nabwo bugenda bukendeera nga eyali assa obubi, agenda atereera era bwe balaba nga kigenda kikendeera, kiba kijja kweggala mu bbanga lya mwaka ogusooka ng’omwana yaakazaalibwa. Naye ssinga bakizuula nga kyeyongera kugaziwa oba nga kigaanye okuziba, aba alina okulongoosebwa.
  5. Ky’olina okukola okuziyiza endwadde z’emitima mu baana l Maama olina okutandikirawo okunywera eddagala mu ddwaaliro amangu ddala ng’ofunye olubuto kisobozese abakugu okukwekebejja.
  6. l Weewale okumira eddagala omusawo ly’atakulagidde ng’oli lubuto . l Weewale okunywa ebitamiiza ng’oli olubuto omuli enjaga, amayirungi, omwenge, sigala n’ebirala kuba bitaataaganya omubiri gw’omwana ng’atondebwa . l Okujjanjabisa obulungi omwana endwadde eziba zimulumbye naddala endwadde z’omu mimiro n’ez’amannyo n’endala zireme kukosa omutima. l Nyiikira okugemesa omwana endwadde zonna ezigemebwa mu kiseera ekituufu kisobozese omubiri gwe okufuna obukuumi obumala .
  7. l Kakasa nti ennyumba abaana mwe basula esobola okuyingiza n’okufulumya empewo bulungi kibasobozese okufuna empewo emala. l Okuliisa omwana obulungi aleme kukona ng’omuwa emmere erimu ebika eby’enjawulo naddala ezimba omubiri, erwanyisa endwadde, emuwa amaanyi, amasavu amalungi, etangira endwadde omuli soya, amata, obuugi, ebyennyanja, amazzi n’ebirala kimusobozese okukula nga mulamu bulungi .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera