TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo yakubunyisa abaami b'emiruka n'abatongole

Mmengo yakubunyisa abaami b'emiruka n'abatongole

By Dickson Kulumba

Added 1st June 2018

Mmengo yakubunyisa abaami b'emiruka n'abatongole

Kat1 703x422

Katikkiro ng'annyonnyola

MMENGO egenda kukyusa n'okunyweza abaami b'emiruka n'ebyalo ng'omu ku kaweefube w'okunyweza obukulembeze bw'Obwakabaka ku mitendera egya wansi n'okutuusa obuwereeza mu bantu ba Kabaka.
 
Bino byayasanguziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bweyabadde asisinkanye Abataka abakulu b'ebika mu Buganda ku Lwokuna May 31,2018 e Bulange- Mmengo nagamba obunywevu bw'abaami ba Kabaka kkowe kkulu mu kubulula Ekitiibwa ky'Obwakabaka.

"Tugenda kuzza buggya abaami b'emiruka n'abatongole kubanga abo twabasangawo era Ssabasajja Kabaka abadde tabakyusanga naye ndowooza ekiseera kituuse.  Twali twetaaga tumale  okunyweza abaami ab'amasaza kuba bangi ku bbo baggya netumala Kabaka n'alonda ab'amaggombolola kati nabo banywedde nga ky'ekiseera okunyweza ab'emiruka n'abatongole," Mayiga bweyategezezza.

 
Katikkiro yayongedde n'ategeza Abataka ng'Obwakabaka bwebumaliridde okutereeza endoliito zonna eziri mu bika kubanga bwebitabeera bumu, enkulakulana ebeera nzibu ya kutuukako naawa eky'okulabirako eky'emisango gy'ebika egisaliddwa okuli ogwa Nakisinge, Ekkobe, Engeye, Envubu ate emirala egikyali mu Kkooti ya Kisekwa saako n'ewa Kabaka gyakukolebwako.
 
" Mu kwongera okunyweza ebika byaffe mbasaba bino;- buli kika kibeere ne Katikkiro ng'ono ayamba ku Mutaka okutambuza emirimu egyo egimulambikiddwa, Mufune abayima ab'ebintu by'ebika era nebaza ab'effumbe kuba ky'ekimu ku bika ekyasooka okuwandiisa abayima. Abayima bakuyamba okuggya pulesa ku Bataka n'abazzukkulu nebakoma eky'okubalisa ebintu. Ekanisa, Klezia ebintu bikuumibwa bayima.
 
Okussa essira ku butonde bwensi nga mukubiriza abazzukkulu okusimba emiti naddala eminnansi okuli emivule, emituba, emisizi n'emirala ku mikolo gyemubeera naggyo ku butaka, ennyimbe,okwanjula n'embaga, okubatiza abaana n'emirala saako n'okuwandiika ebitabo by'ebyafaayo by'ebika byaabwe," Mayiga bweyayongedde okusaba Abataka.
 

Ku nsonga y'Obwavu bweyayogeddeko ng'ekisinga okuswaza abantu ba Buganda, Mayiga yakubiriza Abataka okubulirira n'okwagazisa bazzukkulu baabwe abavubuka okukola kubanga n'enfuga ya Federo nebwenejja, abantu bajja kwetaagisa okukola okufuna eky'okulya era bababulirire bewale endwadde okuli mukenenya basobole okwenyigira mu mirimu gy'okukulakulanya Obwakabaka.

 
Mu kaweefube w'okusobozesa Obwakabaka okubeera n'enfuna ey'omuzindo, Mmengo erina enteekateeka y'okuzimba ekizimbe ky'obusuubuzi ekirala saako n'okwongera amaanyi mu kulwanirira enfuga ya Federo buli kitundu kyekolere ku nsonga zaakyo.
Omukubiriza w'Abataka, Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante IV yategezezza Katikkiro nti waliwo Abataka abakosefu okuli Owakasimba,Ssababiito e Kibulala era neyebaza Mayiga olw'okufisangawo obudde okubasisinkana neboogera ku nsonga ezitali zimu ezikwata ku Bwakabaka.
 
Ensisinkano y'emu yetabiddwamu n'abamu ku Bakatikkiro b'ebika era Abataka bonna wamu bayisizza ekiteeso ekisiima emirimu egikoleddwa Omutaka Herbert Muwanga Kisolo eyavudde mu bulamu bwensi nga 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bg5 220x290

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018...

Omwoleso gwa 'Bride and Grom' 2018 gugguddwaawo e Lugogo: Gwakumala ennaku 3

Laba 220x290

Bp. Ssekamaanya akuutidde ab’e...

OMUSUMBA Mathias Ssekamaanya ayimbye Mmisa e Bungereza n’akuutira Bannayuganda ababeerayo okunyweza obumu.

Ltd 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE ...

Bazudde ebipya ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi ebiwuniikiriza. Mulimu ebikyuse mu nnaku 100 Ochola z’amaze...

Whatsappimage20180622at25800pm 220x290

Balaze emibiri mu mwoleso gwa Bride...

Ebyana biwala biraze emibiri ku mukolo gw'okuggulawo omwoleso gwa Bride and Groom ogutegekeddwa Vision Group ku...

Lindwa 220x290

Mulindwa bamuloopedde abazannyi...

VIPERS olwawangudde ekikopo kya Azam Uganda Premier League, abamu ku bazannyi baayo ne bateekawo obukwakkulizo...