TOP

Bakutte gwe balumiriza okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2018

Bakutte gwe balumiriza okutta Kaweesi

Jup1 703x422

OMUSERIKALE wa poliisi abadde anoonyezebwa nga kigambibwa nti yali kw'abo abaakuba Felix Kaweesi amasasi akwatiddwa. Ye Abel Kitagenda, eyali omuduumizi wa Flying Squad owa Kampala North ng’alina ofiisi ku poliisi y’e Kawempe. Kigambibwa nti yadduka mu Uganda mu October 2017, oluvannyuma lw’amagye okukwata mukama we Nixon Agasirwe awerennemba n’emisango mu kkooti y’amagye egy’okuwamba abanoonyi b’obubudamu n’abazzaayo e Rwanda.

Yaddukira Dubai gye yalina okuva yeeyongereyo e Bungereza eri baganda be, kyokka n’alemererwa okukola ku mpapula. Baamukoledde pulaani endala egenda e Canada ng’omunoonyi w’obubudamu.

Yakomyewo mu Uganda mu April mu buseera bya Paasika. Yakozesezza ssente n’afuna paasipooti endala n’akyusa amannya ne yeeyita Abbas Muyomba. Erya Muyomba linnya lya kitaawe ow’e Bweyogerere mu Bbuto we baasenga nga bava e Busoga.

Yakwatiddwa abaserikale b’ekitongole ekikessi ekya ISO ku Lwokubiri ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ng’agenda okusisinkana amukolera ku mpapula ezimutwala e Canada. Yabadde agenda kumusisinkana ku luguudo Nkurumah emabega wa Uganda House. Yabadde mu mmotoka ya Benz gye yasoose okusimba okumpi n’ekizimbe kya Cham Towers (eyali UCB). Wano we baamusaliddeko ne bamukwata.

Felix Kaweesi yattibwa nga March 17, nga yaakava ewuwe e Kulambiro mu Munisipaali y’e Nakawa. Yattibwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau.

KITAGENDA ENGERI GY’ABIYINGIRAMU Omukazi Christine Muhoza Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi kyokka nga yakwatibwa aba ISO yategeeza nti, olukwe lw’okutta Kaweesi lwalimu abaserikale era olukiiko olwattaanya obutemu lwali ku wooteeri ya Kati Kati. Yayogera abaali mu lukiiko (amannya galekeddwa) okwali eyali omuduumizi wa Flying Squad e Kawempe. Ono kigambibwa nti ye Kitagenda.

Kyokka mu kukola olukwe teyamanya nti naye yali waakufa. Kigambibwa nti Kitagenda yalabwako ku geeti ya Kaweesi ku makya ng’ali ku pikipiki n’ayogera n’omuserikale akuuma geeti era omuserikale yawulirwa ng’agamba omusajja eyali ku pikipiki ateeberezebwa nti ye Kitagenda nti “we shall keep time” ekitegeeza nti, 'tugenda kukwata obudde'.

Eyali ku pikipiki yavuga n’agenda. Kigambibwa nti emmotoka ya Kaweesi bwe yatuuka we baamuttira, eyali ku pikipiki we yali era yawanika omukono n’ayimiriza emmotoka. Eno y'ensonga lwaki emmotoka yasigala etokota nga n'amataala gaaka.

Olw’okuba ddereeva yali mu lukwe, yayimiriza emmotoka olwo abatemu ne balyoka bakuba Kaweesi ne banne amasasi. Kiteeberezebwa nti omusajja ono yali Kitagenda. ANI YALIWO OKULABA? Kaweesi bwe yattibwa waliwo omuvubuka eyakwatibwa nga ye Isaac (amannya amalala galekeddwa).

Ono abeera kumpi n’ewa Kaweesi era byonna ebyaliwo yabiraba ng’asinziira mu ddirisa. Isaaca ne banne bana (amannya galekeddwa) baasooka kuggalirwa Kyengera mu nfo ya ISO gye baabaggya okubazza e Nalufenya. Nga bali e Nalufenya yalaba Kitagenda ng’aleese abasibe abalala ku musango gw’okutta Kaweesi, olwo Isaac n’ategeeza banne nti “oyo ye musajja gwe nnalaba mu kutta Kaweesi.” Kyokka banne baamukomako asirike, kyokka oluvannyuma bino yabitegeeza aba ISO.

Kaweesi bwe yattibwa, Kitagenda y’omu ku baakozesebwa okukwata abagambibwa okuba abatemu. Col. Frank Bagyenda Kaka akulira ISO bwe yatuukiriddwa yategeezezza Bukedde nti, bakyalina be bakyanoonya era ajja kubyogerako nga bakwatiddwa.

Okwogera ne Kaka twasoose kutuukirira Minisita w’obutebenkevu, Gen Elly Tumwine eyajulizza Kaka. Omwogezi wa poliisi, Emilian Kayima yategeezezza Bukedde nti, Kitagenda tamumanyi ng’omuserikale wa poliisi n’agamba nti osanga abadde “yinfooma'.

Omwogezi w’amagye, Brig, Richard Karemire yagambye nti amagye si ge gaamukutte, “Mubuuze abaamukutte abatuufu.” Kaweesi bukya attibwa, waliwo abantu bangi abazze bakwatibwa kyokka abamu ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abatatayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...

Smartp1 220x290

Uganda egenda kutandika okukola...

UGANDA egenda kutandika okwekolera amasimu ekkolero eriri mu kuzimbibwa mu kibangirizi ky’amakkolero e Namanve...

Laga 220x290

Enfa y’omukungu wa UN etabudde...

ENFA y’omukungu w’ekibiina ky’Amawanga amagatte etabudde aba famire nnamwandu ne bamukasukira ebintu n’abaana be...

Armed2 220x290

FMU esiimye Kabushenga

Empaka za ddigi eza ‘Armed Forces Appreciation Motocross Championship’zaaliwo mwezi guwedde n'ekigendererwa ky'okusiima...