TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ziizino ensonga ezaayambye FDC okumegga NRM e Rukungiri

Ziizino ensonga ezaayambye FDC okumegga NRM e Rukungiri

By Ali Wasswa

Added 2nd June 2018

Umar Kiyimba eyakuliddemu okulondesa yalangiridde Muzanira ku buwanguzi ku ssaawa 11:13 nga bukya ku Lwokutaano nga yafunye 5,0611. Matsiko owa NRM eyamuddiridde yafunye 4,6379, Sezi Prisca Bessy Mbaguta (993) ate Fabith Kukundakwe owa PPP n’afuna 183.

Laba 703x422

Muzanira ng'akuba akalulu akaamuyisizzaamu.

OWA FDC Betty Bamukwatsa Muzanira yalangiriddwa ku buwanguzi bw’omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Rukungiri oluvannyuma lw’okusinga Winifred Matsiko Komuhangi (NRM).

Umar Kiyimba eyakuliddemu okulondesa yalangiridde Muzanira ku buwanguzi ku ssaawa 11:13 nga bukya ku Lwokutaano nga yafunye 5,0611. Matsiko owa NRM eyamuddiridde yafunye 4,6379, Sezi Prisca Bessy Mbaguta (993) ate Fabith Kukundakwe owa PPP n’afuna 183.

Abawagizi ba Muzanira baatandikiddewo okujaganya ku Lwokuna, oluvannyuma lw’obululu okutandika okubalibwa mu bifo eby'enjawulo nga kulaga nti omuntu waabwe yabadde akulembedde.

Mu kiseera ky’okubala obululu, Matsiko yeekandazze n’afuluma ekisenge mwe baabadde babalira obululu.

Obuzibu bwavudde ku kifo ekimu ekironderwamu okulaga nti Matsiko yabadde afunye 695 ate Muzanira ng’afunye 80.

Aba FDC baabiwakanyizza kuba foomu ze baabadde nazo nga ziraga nti Matsiko yafunye 276 ate Muzanira 117 mu kifo kye kimu.

Akakiiko k'ebyokulonda kaasazeewo okutwala ebyabadde ku mpapula ezaabadde zikwatagana n’eza FDC, ekintu ekyawalirizza Matsiko okwekandagga n’afuluma.

Matsiko yalumirizza nti, obululu bwe bwabiddwa aba FDC era n’awera nga bw'agenda okuddukira mu kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Muzanira kuba babbye obululu bwe ne bakatagga.

EBYAYAMBYE MUZANIRA OKUWANGULA

Col. Kizza Besigye eky’okuba ng’azaalwa mu kitundu kino era nga mulonzi yaggyeeyo n’ago mu buto okulaba nga tawangulwa mu kitundu kye. Kuno kwegasseeko n’obumu obwayoleseddwa ab’oludda oluvuganya abeegattiddwaako Loodi Meeya Erias Lukwago, Robert Kyagulanyi 'Bobi Wine' (Kyaddondo East) n’ebikonge bya FDC ebirala.

Abantu b'e Rukungiri obwedda balumiriza Gavumenti okubasuulirira kuba abaana baabwe abanene abaali mu Gavumenti bangi baasuulibwa.

Mu kiseera kino nga tebakyalaba bantu nga Jim Muhwezi, Henry Tumukunde n’omugenzi Gen. Aronda Nyakairima balaba nga we baava tebalina yabaddira mu bigere.

Embeera y’amakubo amabi mu disitulikiti abantu baagyesibyeko nnyo nga bagamba nti Gavumenti yabeerabira naddala ekkubo eriva e Rukungiri okudda e Kanungu bbi nnyo.

Wadde nga gye buvuddeko Pulezidenti yagenda e Rukungiri n’abagabira ebintu bya bukadde kyokka ab’oludda oluvuganya obwedda bakitaputa nti abikola lwa kuba tebamuwagira.

Abamu baalumirizza nti okulonda mwetabiseemu enjawukana z’eddiini. Muzanira Mukatolikiti ate Abakatoliki bangi e Rukungiri ate nga Matsiko Mukrisitaayo.

Abalonzi abamu obwedda balumiriza Matsiko okwetumiikiriza n’alonda ng’akkiriza okukwata ku Konsitityusoni ekintu kye bagamba nti teyabeebuuzaako era tewali yamutuma. Obutamulonda kwabadde kumubonereza.

Disitulikiti y'e Rukungiri yasangiddwa ng’erimu abawagizi ba FDC abawerera ddala. Ku babaka abana abaalondebwa mu 2016, NRM yawangulako babiri ne FDC babiri, kino kitegeeza nti ab’oludda oluvuganya baabadde ne we batandikira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.