TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'enzaalo omukaaga akoze akaddannyumane bamuttira mu loogi

Ow'enzaalo omukaaga akoze akaddannyumane bamuttira mu loogi

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd June 2018

CHRISTINE Namutebi 52, omukazi ow'enzaalo omukaaga yakedde mu matulutulu kubuuka mu buliri n'abulekamu bba Henry Lubwama n’agenda n’omusajja gwe yasooka okuganza mu loogi ne beesanyusa n'oluvannyuma n'amuttirawo!

Batya 703x422

Kabuleeta ne Namutebi gwe yaddidde ate n'amutta.

Namutebi abadde amanyiddwa ennyo mu kusuubula ebirime mu katale k’e Kibuye, yattiddwa mu bukambwe n’aleka basuubuzi banne ne bba mu kiyongobero.

Kigambibwa nti Namutebi abadde acanga abasajja bana, ng'ababiri abalinamu abaana bonna omugatte abali omukaaga ate ng'abasajja ababiri okuli n’eyamusse babadde tebamulinaamu mwana yenna.

Okusinziira ku booluganda lw'omugenzi, Namutebi yasooka kubeera ne Sekiziyivu omutuuze w’e Kasanje ne baawukana ng’amuzaddemu abaana babiri. Oluvannyuma yafumbirwa omusajja omulala Meddi Kalule omutuuze w’e Bukuya.

Kalule yamuzaalamu abaana bana naye n'amusuulawo n'adda ewa David Kabuleeta, amanyiddwa nga 'Ssaalongo Mutooro'.

Okufuna Kabuleeta yasooka kumwetikkira migugu gy’ebintu bye yaleetanga mu katale k’e Kibuye n’oluvannyuma n’amutongoza ekyaleka basuubuzi banne nga bamunyeenyeza mutwe.

Regina Nattabi, omu ku booluganda lwa Namutebi yategeezezza nti, omugenzi yamala emyaka esatu ne Kabuleeta ne baawukana n'afuna omusajja omulala Henry Lubwama.

Fred Sennyonjo, nga naye waaluganda lwa Namutebi yategeezezza nti, nga yaakafuna Lubwama, omutuuze w’e Jjeza, mu disitulikiti y’e Mityana, Kabuleeta, yatandika olutalo n’okukubira Namutebi essimu ng'amutiisatiisa okumusasula singa takkiriza kuding'ana.

 kasenge ka loogi mwe battidde amutebi Akasenge ka loogi mwe battidde Namutebi.

 

“Lumu yamulumba ewa Lubwama, enju n'agiteekera omuliro Katonda n’abataasa kyokka n'addamu okukukuta n’omutemu", Ssenyonjo bwe yategeezezza.

Lubwama agamba nti mukazi we yamulese yeebase nti, agenda mu katale e Kibuye kyokka oluvannyuma yakitegedde nti, waliwo omusajja eyamukimye okuva w’akolera n’agenda naye ku ssaawa 4:00 ez’oku makya n'atuuka olweggulo nga takomawo.

“Okuva ku Lwokusatu okutuuka ku Lwomukaaga, tubadde tumunoonya ate ng'essimu ye bwe tugikubako, teyitamu amaanyi ne gatuggwaamu", Lubwama bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, baabadde bakyanoonya, ne wabaawo abaabategeezezza nti waliwo omuntu eyabadde afumitiddwa ekiso mu lubuto, obulago n’embugo, ng’obukazi busaliddwaako, eyazuuliddwa munda mu kasenge ka loogi ya INNLAND esangibwa e Kibuye.

Baagenze mu ggwanika e Mulago ne bakebera omulambo nga gwe gwa Namutebi. Okunoonyereza okwakoleddwa kulaga nti, yasoose kunyumya naye kaboozi oluvannyuma n'amusogga ekiso mu bulago n'ebirala ebyaddiridde.

Abooluganda bagguddewo omusango gw’obutemi ku poliisi y’e Katwe, ku fayiro nnamba CRB: 043/2018.

POLIISI EKUTTE ABA LOOGI

Poliisi yakutte abakola ku loogi ya INNLAND, okwabadde omuvubuka Emma ne Juliet, babayambeko mu kunoonyereza.

Ye omuvubuka Emma yetegeezezza nti engeri Namutebi ne Kabuleeta gye baali beeyisaamu nga kiraga omukwano gubasaza mu kabu.

“Baayingira mu loogi ku ssaawa 4:00 ne bagamba nti, bagenda kumalamu essaawa bbiri zokka. Oluvannyuma omusajja yafuluma nti agenda kuleeta byakulya kyokka yasooka kumbuuza oba nnali mmulabyeko ne mmugamba nti, nedda, n’agenda", Emma bwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...