TOP

Omukuumi abbye emmotoka 3 mu kibanda

By Joseph Makumbi

Added 3rd June 2018

OMUKUUMI ku kibanda ky’emmotoka mu Ndeeba ekya Kalungi Investments yeekobaanye n’ababbi ne banyaga emmotoka ssatu n’asuulawo emmundu n’adduka.

Walk 703x422

Ceaser Ongwen 38 omukuumi mu Dillard Security Group, emmundu yagisudde mu mipiira gy’emmotoka egyapangibwa munda mu kibanda n’abulawo n’emmotoka ssatu.

Mmotoka ezabbiddwa kuliko Toyota Mark X UBD 038K, Toyota Premio UAY 547A ne Toyota Wish UBA 326Y.

Resty Namiyingo akulira ekibanda kino agamba, emmotoka zabbiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu.

Ongwen ye yabadde akuuma ekifo kyokka baagenze okutuuka ku kibanda, ng’emmotoka ezimu teziriimu n’omukuumi talabikako.

Emmotoka ezabbiddwa za Godfrey Kalungi, omusuubuzi w’emmotoka ku Pine ku Lumumba Avenue mu Kampala abadde yakola ettabi mu Ndeeba Yagasseeko nti, bagguddewo ne banoonya omuserikale nga tebamulaba baagenze okwetegereza mu kibanda, nga mulimu amabanga we baategeeredde nti ezimu ku mmotoka zaabadde zibbiddwa.

Baakebedde mmotoka ku mmotoka nga balowooza nti omukuumi osanga yabadde attiddwa n’ababula kye baasobodde okuzuula y’emmundu gye yalese emabega.

“Twasanze akapapula akaabaguddeko nga kaliko emmotoka ttaano ze baabadde bakimye ezimu zaabadde ku UBA ate endala UBD ezimu zaabalemye okutwala olwa bbaatule okubeera enfu.” Namiyingo bwe yategeezezza.

Yagguddwaako omusango ku poliisi y’e Lubaga ku fayiro SD 09/30/05/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano