TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bambega b'amagye ISO balaze ekifo awaatuula olukiiko lw'okutta Kawessi

Bambega b'amagye ISO balaze ekifo awaatuula olukiiko lw'okutta Kawessi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th June 2018

Bambega b'amagye ISO balaze ekifo awaatuula olukiiko lw'okutta Kawessi

Sa2 703x422

Omugenzi Kaweesi

AMAGYE okukwata omuserikale Abel Kitagenda kiddiridde aba ISO okukwata omusajja omulala eyalonkoma abagambibwa okutemula Andrew Felix Kaweesi. Omusajja eyasooka okukwatibwa omwaka oguwedde alanga enviiri z’Abaraasi era mu bitabo by’abeebyokwerinda erinnya baawandiikamu Rasta. Ono alumiriza nti pulaani y’okutta Kaweesi yakolerwa mu lukiiko olwatuula ku woteeri ya Kati Kati e Lugogo era abaali mu lukiiko olwo kwaliko muninkini wa Kaweesi ayitibwa Christine Mbabazi Muhoza.

Erinnya eddala lyalumiriza lya Abel Kitagenda ono yakwatiddwa wiiki ewedde ng’attaanya entegeka z’okusengukira mu Canada ng’omunoonyi w’obubudamu. Mbabazi yakwatibwa mu September 2017 era okuva olwo ali mu mikono gya ISO.

Rasta naye aliko ekifo aba ISO we bamukuumira kyokka nga kigambibwa nti alinga eyafuuka omukozi waabwe oluvannyuma lw’okumuzuula nga mulungi mu kubega. Aba ISO bazudde ng’okutta Kaweesi kwenyigirwamu obutereevu abaserikale ba poliisi abalala munaana. Kyokka ng’abasinze okusongebwamu olunwe bataano era bonna baali bakolera wansi wa Nixon Agasirwe. Bukya Agasirwe akwatibwa mu October 2017 n’aggulwako emisango mu kkooti y’amagye bonna abataano badduka.

Kitagenda naye yadduka bwe baakwata Agasirwe. Kigambibwa nti abadde Dubai. Kyokka yakomawo mu biseera bya Paasika n’afuna Paasipooti endala mu mannya ga Abbas Muyomba gy’abadde agenderako e Canada.

Amannya g’abaserikale abanoonyezebwa okubaako bye babuuzibwa kuliko Muhamood Matovu, Alex Katungi, Wilson Atekateka, Julius Kasunguza ne Solomon Nuwaha. Kaweesi yattibwa March 17, 2017 bwe yali yaakava ewuwe e Kulambiro.

Yattibwa ne dereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau. EBYAKAZUULWA Waliwo olukiiko olwatuula ku Kati Kati era kigambibwa nti lwalimu n’abamu ku banene mu poliisi. Olukiiko luno lwatunuulira pulogulaamu ya Kaweesi eya wiiki yonna ne bakkaanya ng’ennaku ezaali zisinga obwangu okumuttirako kwaliko Olwokuna nga March 16, lwe yalina be yaliko b’agenda okusisinkana e Ntebe.

MBABAZI YALI MU LUKWE?

Aba ISO bagamba nti Kaweesi yaliko b’agenda okusisinkana e Ntebe oluvannyuma asisinkane Mbabazi. Omulimu gwa Mbabazi gwali kukwatagana n’abatemu okubawa entambula za Kaweesi okuva e Ntebe. Kyokka Kaweesi bwe yatuuka e Ntebe n’afuna pulogulaamu endala n’akubira Mbabazi essimu ng’amutegeeza basisinkane nkeera e Mukono.

OLUKIIKO OLULALA

Kigambibwa nti Mbabazi bwe yategeeza abatemu nti eby’e Ntebe bifudde, baatuuza olukiiko olulala ku Lwokuna ekiro ne basalawo okumuteega ng’ava ewuwe e Kulambiro.

Kigambibwa nti abaali mu lukiiko baasalawo abaserikale bonna mu kitundu bakuhhaanire ku poliisi ya Kira Road okubabala. Kituufu, Kaweesi essaawa kwe yattirwa, abaserikale baali Kira Road y’ensonga lwaki tewali yadduukirira.

Kyokka Bukedde teyasobodde kukakasa oba kino kyakwatagana bukwataganyi ne pulogulaamu eyo nga yali yakolebwa dda, oba nga ddala kituufu baabaggyawo mu bugenderevu. Aba ISO balumiriza nti Mbabazi ennaku zombi Olwokuna n’Olwokutaano yali ku ssimu ne Kaweesi.

Ate ddereeva wa Kaweesi naye yayogerera ku ssimu enfunda eziwera n’abatemu. Kaweesi baamutta agenda ku yunivasite e Mukono okwogerera mu lukiiko lw’abayizi. E Mukono gye yalina okusanga Mbabazi ng’olukiiko luwedde. Kyokka Bukedde yayogera ne Mbabazi ne yeegaana Rasta. Kyokka alumiriza akulira ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka nti eby’okutta Kaweesi y’abimusibako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.