TOP

Palamenti egobye okusaba kwa Bbanka Enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 4th June 2018

Palamenti egobye okusaba kwa Bbanka Enkulu

Sim1 703x422

Mutebile

PALAMENTI erinnye eggere mu kusaba kwa Bbanka Enkulu okuweebwa obuwumbi 500 okuva mu gavumenti okukola ku bizibu by’ensimbi by’etubiddemu mu kiseera kino. Bbanka enkulu nga mu kiseera kino eri mu kubuulirizibwako omubazi omukulu ow’ebitabo bya gavumenti, Auditor general (AG) ku ngeri gye yakwatako eby’obugagga bya Bbanka ez’enjawulo ezizze ziggalwawo, etubidde mu bizibu bya ssente obuwumbi 474 ze yafiiriziddwa mu nzirukanya ey’emirimu gyayo nga kati yeetaaga obuwumbi 505 okuva mu gavumenti esobole okweteereza.

Kyokka ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka Bajeti bwe baabadde bateesa ku bajeti empya eya 2018/19 baasimbidde ekkuli enteekateeka eya gavumenti okuwa Bbanka Enkulu obuwumbi 504 nga baagala gavana Tumusiime Mutebile asooke annyonnyole engeri Bbanka Enkulu gye yafiirizibwa ssente obuwumbi 474.

Omuwanika w’eggwanga, Keith Muhakanizi mu bbaluwa ye eya May 24, 2018 eri Palamenti, yannyonnyodde ku bizibu by’ensimbi Bbanka Enkulu by’etubiddemunga yeetaaga obuwumbi 504 mu bwangu kyokka ababaka baawakanyizza enteekateeka eno.

Gyebuvuddeko Sipiika Rebecca Kadaga yawadde olukusa omubazi omukulu ow’ebitabo bya gavumenti okukola okubuuliriza okujjuvu ku Bbanka Enkulu ku bw’ekuttemu ebyobugagga bya bbanka ezizze ziggalwa okuli; Greenland Bank, International Credit Bank, Cooperative Bank, National Bank of Commerce, Global Trust Bank, Crane Bank n’endala.

Omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah eyabadde asoose okuwakanya eby’okunoonyereza ku Bbanka Enkulu yategeezezza nti akkaanya n’ekiragiro kya Kadaga ku kubuuliriza ku Bbanka Enkulu n’annyonnyola mu lutuula lwa palamenti wiiki ewedde nti ye yasooka okukkiriza ekiteeso ku kubuuliriza ku Bbanka Enkulu okwanjibwa wabula yali afunye ebbaluwa okuva mu bannamateeka nti ensonga ziri mu kkooti kyokka kati akkaanya n’ekyasaliddwaawo Kadaga.

Ababaka baagala nga lipoota ey’omubazi w’ebitabo bya gavumenti omukulu John Muwanga ewedde ku ngeri bbanka enkulu gye yaggalawo bbanka ez’enjawulo, n’akakiiko ka palamenti akalondoola enzirukanya y’ebitongole bya gavumenti nako kasinziire kuno okubuuliriza n’okuzuula amazima ku ngeri bbanka ezo gye zaggalwawo.

Wabula Bbanka Enkulu bawakanya okubuulirizibwa kwonna okukolebwa ku nsonga eno nga bagamba nti kutyoboola ebigenda mu maaso mu kkooti kubanga waliwo emisango ku zimu ku bbanka eziggalwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.