TOP

UNEB egaddewo okuwandiisa abayizi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th June 2018

UNEB egaddewo okuwandiisa abayizi

Neb2 703x422

aBAYIZI NGA BAKOLA EBIGEZO

EKITONGOLE ekiteekateeka ebigezo ebya P7, S4 ne S6 ekya UNEB kyaggaddewo okuwandiisa abayizi mu butongole wiiki ewedde. Akulira ekitongole kya UNEB Daniel Nokrach Odongo yagambye nti baatandika okuwandiisa abayizi mu March omwaka guno oluvannyuma lw’abavunaanyizibwa ku kuwandiisa abayizi okutendekebwa era kwakomekkerezeddwa mu butongole nga May 31, 2018.

Omuyizi okwewandiisa waliwo by’alina okutuukiriza omuli okusasula ensimbi z’okwewandiisa ng’ali mu ssomero ery’obwannannyini wabula bw’aba mu ssomero lya Gavumenti y’emusasulira.

Twetaaga obufaananyi bw’omuyizi n’okumanya ebimukwatako ku byobuzaale bwe.Omwaka guno UNEB tekyusizza mu bisale bayizi bye balina kusasula. Basasudde nga ez’omwaka oguwedde. Omwaka oguwedde ekitongole ky’ebigezo kyayongeza ebisale by’okuwandiisa abayizi abaakola ebibuuzo by’akamalirizo .

Abayizi ab’ekibiina ekyomusanvu baabongezaamu 10,000/-. Abaali basasula 24,000/- omwaka baasasula 34,000/-. Aba siniya eyookuna baabongezaamu 41,000/-. Abaali basasula 123,000/- baasasula 164,000/-. Aba siniya eyomukaaga ne bongezebwamu 56,000/- ku 130,000/-. Kati basasula 186,000/-

OMUTANGO KU BANAAKEEREWA Akulira ekitongole kya UNEB Daniel Nokrach Odongo yagambye nti wakyaliwo omukisa gw’okwewandiisa ekikeerezi.

Yatangaazizza nti ekiseera kino nakyo kiggwaako omwezi guno nga June 30, 2018. ABEEWANDIISA EKIKEEKEEREZI Ssente z’okwewandiisa zeeyongeramu ebitundu 50 ku buli 100 okuva kw’ezo ezibadde zisasulwa mu bbanga liri eggere eryaweddeko.

Kino kitegeeza nti oyongeramu makkati ga ssente ezibadde zisasulwa. Okugeza omuyizi w’ekibiina ekyomusanvu alina okusasula 51,000/-, siniya eyookuna naasasula 246,000/-, ate siniya eyoomukaaga ne basasula 279,000/-. Wabula ate n’oluvannyuma lw’ebbanga ly’omwezi ogumu ogw’ekikeerezi, era wakyaliyo omukisa omulala okukukkiriza okwewandiisa. Ekiseera kino kikomekkerezebwa July 31, 2018.

Guno gwe gusembayo mu kwewandiisa. Mu mwezi guno ssente z’okwewandiisa zeekubisaamu emirundi ebiri, omuyizi ayongeramu ebitundu 100 ku 100 ebya ssente z’okwewandiisa ezassibwawo mu butongole. Okugeza owa P7 aba alina okusasula 68,000/-. Owa S4 ng’asasula 328,000/- ate S6 ng’asasula 372,000/- Enkola ey’okwewandiisa egamba nti tebakkiriza kusasula mu bitundutundu.

Zonna zirina okuleetebwa omulundi gumu. Tewali bibuuzo bijja kuweebwa ba nnyinibyo nga bakyabanjibwa ebbanja lyonna erya UNEB, wadde lya mwaka gw’emabega, ate era Center yonna erina ebbanja ekkadde ne UNEB si yaakukkirizibwa kuwandiisa bayizi mulundi guno mu 2018. Omanya ot ya eyeewandiisizza Abazadde bangi babadde bagwa mu buzibu okutuuka mu bibuuzo ne bakabatema ng’abaana baabwe bwe bataawandiisibwa kutuula bibuuzo by’akamalirizo ng’abasomesa baalya ssente zaabwe. Kino ab’ekitongole ky’ebigezo baakisalira amagezi.

waliwo enkola y’okukebera omuyizi okumanya oba yawandiisibwa. UNEB yataddewo ennamba, eyefaanaanyirizaako eyo ekozesebwa ng’ebibuuzo bikomyewo, omuzadde awandiika obubaka oba mesegi mu ssimu ye n’azzaako Index Number y’omwana essomero gye lyamuwadde n’aweereza ku nnamba 6600.

Aba afuna ebikwata ku mwana we n’amanya oba yawandiisibwa oba teyawandiisibwa n’akisalira mangu amagezi. Osobola okukebera ku yintaneeti okumanya oba omwana yawandiisibwa.Wandiika ekigambo; ereg.uneb.ac.ug ku yintaneeti, londako ekigambo “Registration status”, awo ejja kukuleetera aw’okuteeka ennamba y’omuyizi ‘Index Number’ naye era kikwetaagisa okumanya “Center number” y’essomero, awo ekuleetera ebikwata ku kuwandiisibwa kw’omwana.

Naye obubaka buno osobola kubufuna okutandika mu August ng’okuwandiisa kwonna nokw’ekikeerezi nga kuwedde, Waliwo n’enkola ey’okwewandiisa ssekinnoomu ekiyitibwa Private Registration, ogwo omukisa nagwo weeguli eri abayizi n’abantu abalina ensonga ez’enjawulo ezaabalemesa okwewandiisa mu bbanga eryateekebwawo, bano bajja ku UNEB ssekinoomu ne bawaayo okunnyonnyola n’okwewozaako kwabwe, UNEB bw’ekiraba nga ddala basaanidde okukwatirwa ekisa bawandiisibwa wadde obudde buyise ne basobola okutuula ebibuuzo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...