TOP

Muwala wa Sseninde ayanjudde ‘muvabulaaya’

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2018

Muwala wa Sseninde ayanjudde ‘muvabulaaya’

Kip1 703x422

Nabulime ne bba Ssali.

Joanitah Nabulime ayanjudde bba Paul Ssali eri bakadde be Omwami Kizza Sseninde ne Minisita Rosemary Nansubuga Sseninde ku mukolo ogw’ekitiibwa ogwabadde mu maka gaabwe e Kasangati ku lw’e Gayaza kuLwomukaaga.

Ssali abeera mu Amerika. Omukolo gwatandise n’okusaba okwakulembeddwa Omwawule w’e Wampeewo,Wilson Segawa era abako baayaniriziddwa wakati mu mazina agaakuliddwa Annet Nandujja owa The Planets.

Nnamutikkwa w’enkuba eyafukumuse teyasaze ku ssanyu ly’abantu abaabadde abangi abaakulemebddwa Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi eyabugiriziddwa Baminisita Gen. Elly Tumwine avunaanyizibwa ku butebenkevu, Parsis Namuganza ow’Ebyettaka ne Muluuli Mukasa ow’ensonga z’abakozi ba Gavumenti.

Abo beegattiddwaako mikwano gya Basseninde okuva mu magye, ababaka ba palamenti, abakungu b’e Mmengo n’ebikonge bya Gavumenti naddala abaavudde mu Minisitule y’Ebyenjigiriza ng’eno Muky. Sseninde gy’akolanga Minisita avunaanyizibwa ku masomero ga pulayimale.

Sseninde yakuutidde Ssali okwagala muwala we, gwe yagambye nti sayizi y’obutono gy’aliko yenkana ne Rosemary bwe yali, mu kiseera Sseninde we yamuwasiza kati emyaka 30 n’okusoba. Kyokka olwa Sseninde okulabirira obulungi Rosemary olowooza nti baafumbiriganiddwa ggulo.

Embaga ya ku Lwamukaaga luno e Namirembe. Ssekandi eyawaddeyo olunaku lwonna n’abeera ne Basseninde yasibiridde Ssali ne Joanita entanda y’okubeera abakozi. Minisita Namuganza yayogedde ku mbeera y’Ebyettaka n’akuutira abantu okukola ennyo balifune kubanga ettaka bwe bugagga.

Kyokka yabalabudde obutattihhana lwa ttaka n’awa ekyokulabirako ky’abooluganda abaafudde e Masaka nga bakaayanira ettaka ne yeebuuza bwe mufa olwo liba ly’ani? Tumwine yagumizza abantu ku byokwerinda nti abagezaako okutabangula eggwanga bajja kusaanyizibwawo. Yasuubizza Ssali ne mukyala we ente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza