TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muwala w’omugagga yeetuze n’alekera bazadde be obubaka

Muwala w’omugagga yeetuze n’alekera bazadde be obubaka

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2018

Muwala w’omugagga yeetuze n’alekera bazadde be obubaka

Reb1 703x422

MUWALA w’omugagga w’e Nalukolongo Hajji Hussein Makanga, yeetuze n’alekera bazadde be obubaka obukambwe. Aisha Nakazibwe 17, abadde asoma siniya eyookusatu ku St. Kizito SS e Kabowa y’avudde mu mbeera n’agula omuguwa gw’asibye waggulu ku luggi mu kisenge kye mu maka ga bakadde be n’agweyimba mu bulago ne yeggya mu bulamu bw’ensi eno!

Nga tanneetuga, alese awandiise akabaluwa okuli obubaka bw’alekedde abazadde nga bugamba nti, akooye obutafi ibwako mu nsonga ez’enjawulo z’abaddenga ategeeza kitaawe omuli n’okumusaba abasengule okuva mu maka we basula ne nnyina agasangibwa mu zooni ya Najja II kubanga waliwo bakazibaggya ba nnyina bangi abaliraanaganye ekireetawo entalo wabula n’agaana.

Ekikolwa ky’omuwala Nakazibwe kiggye bangi enviiri ku mutwe nga beewuunya muwala w’omugagga bw’ayinza okwetuusa ku kintu bw’ekiti nga buli kimu awaka weekiri. Nnyina Joseline Ssanyu yagambye nti, muwala we nga tanneetuga yasoose kuwamba ssimu ye (eya nnyina) n’agiremera olw’ensonga zaataategedde.

Hajji Makanga, kitaawe wa Nakazibwe yategeezezza nti, abadde akolagana bulungi ne muwala we nti wabula ku Lwomukaaga, omwana yagenze ku dduuka lye erisangibwa mu Ndeeba ng’akozesa bodaboda. Yamunenyezza okukozesa bodaboda olw’ebigenda mu maaso eby’okuwamba abaana b’abagagga ne babasaba ssente, era n’amunnyonnyola obuzibu obukirimu, n’alowooza nti ategedde bulungi.

Yamuvuze mu mmotoka n’amukomyawo awaka era n’alabula ne mukyala we okulekera awo okukkiriza abaana okumala gatambula, kyokka naye yeewuunyizza okumukubira essimu ku makya nti omwana yeetuze.

Sharif Ddamulira, omu ku ba famire yagambye nti, “nkuze ne Nakazibwe naye abadde alina obusungu bungi. Ng’ayomba nnyo ne banne ku buntu obutono n’olaba ng’asussizza obusungu. Ng’olumu ayinzan’okwonoona ebintu awaka singa anyiiga.” Ye atwala poliisi y’e Najjanankumbi, Muhammad Ssemambo agambye nti, omugenzi yatwalibwako mu ofi isi ye, bwe yali agobeddwa ku ssomero lya Trinity SS e Ntebe gye yali asomera ne bamutwala mu ddala n’aligaana nga kitaawe ayagala bamubuulirire.

“Twamutuuza ne twogera naye ne tumubuulirira, naye ng’alaga nti mukambwe nnyo, ye ayagala afune buli ky’aba asabye. Neewuunyizza ate okunkubira essimu nti omwana y’omu yeetuze,” Ssemmambo bw’agambye. Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Lukas Owoyesigyire, yagambye nti bakyanoonyereza ekyaleetedde Nakazibwe okwetta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...