TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ey'obugagga bya Ben Kiwanuka birugenze: Amaka g'e Kabusu bagasenze

Ey'obugagga bya Ben Kiwanuka birugenze: Amaka g'e Kabusu bagasenze

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2018

Ey'obugagga bya Ben Kiwanuka birugenze: Amaka g'e Kabusu bagasenze

Ki1 703x422

Amaka ga Ben Kiwanuka ge baamenye.

EBYOBUGAGGA bya Ben Kiwanuka eyali Ssaabalamuzi wa Uganda era Pulezidenti wa DP, omuli ettaka, amaka ag’ebbeeyi e Lubaga, Masaka ne Kampala bamanerenda ababanja famire basuliridde kubitwala.

Bamanerenda baasoookedde ku maka amakulu era ag’ebyafaayo agabadde e Nalukolongo ku Musigula ne bagakoona ne gagwa ku ttaka oluvannyuma lw’omusika wa Ben Kiwanuka, Maurice Peter Kagimu Kiwanuka eyaliko Minisita era omubaka wa Palamenti akiikirira Bukomansimbi, okwewola ssente ne zimulema okusasula.

Bawannyondo ba kkooti baagenze n’ebimotoka biweetiiye ku Lwokutaano lwa wiiiki ewedde ne basenda amaka agabadde gapangisibwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamo ekya UNCHR.

Ekyasinze okwewuunyisa be bawannyondo okumala ennaku bbiri, ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga nga basenda amaka ga Ben Kiwanuka nga tewali abakuba ku mukono era Kagimu Kiwanuka teyalinnyeewo kubaako ky’akolawo okubatangira.

Bwagenze okuziba ku Lwomukaaga ng’agabadde amaka ga Ben Kiwanuka kifuuse kyangaala era amalaalo ya muka Ben Kiwanuka, Maxencia Zalwango gaasigadde mu bbanga. Loodi Meeya Erias Lukwago ye yadduse n’ataasa ebintu bya Ben Kiwanuka eby’omugaso okuli ebiwandiiko, ebitabo n’emmotoka ye eyali yafuuka eky’obulambuzi.

Amaka gano agabadde ku bugazi bwa yiika nnamba n’omusobyo nga we wali n’amalaalo ga Nnamwandu wa Kiwanuka, Maxencia Zalwango Kiwanuka eyaziikibwawo mu 1992, gaasigadde mu bbanga ng’abantu batya nti abaasenze ennyumba nago bagenda kugasenda. Kagimu Kiwanuka bwe yatuukiriddwa eggulo yasoose kussa kikkowe oluvannyuma n’asaba omusasi ono okumukubirako mu ddakiika 40 kyokkabwe zaaweddeko n’amukubira teyazzeemu kukwata ssimu.

 malaalo ga mukyala wa en iwanuka exencia iwanuka agaasigadde mu bbanga Amalaalo ga mukyala wa Ben Kiwanuka, Mexencia Kiwanuka agaasigadde mu bbanga.

 

Kyokka ensonda zaategeezezza nti Kiwanuka yali yeewola ssente okuva owa Manerenda eyategeerekeseeko erya Mugabo era ssente zibadde zitutte ebbanga ddene nga we baasendedde amaka ng’ebbanja likunukkiriza mu kawumbi.

Atwala ebyokwerinda mu Zooni eno, Yoweri Yawe yagambye nti, tewali nkaayana yonna ku ttaka ly’omugenzi Ben Kiwanuka wabula Kagimu ye yasalawo okulitunda era bawannyondo baabatuukiridde nga tebannakoona nnyumba ne babalaga empapula ezibawa olukusa nga ntuufu. “Twabalagira okusenda ng’obudde misana era baatandise ku Lwokutaano ne bamaliriza ku Ssande nga tewali yavuddeyo kukaayana era tewaabaddewo wadde poliisi”, Yawe bwe yannyonnyodde. N’agamba nti aba famire ya Kiwanuka babadde tebabeera mu maka gano wabula nga bagapangisa abanoonyi b’obubudamo okuli bannansi ba Somalia ne Ethiopia.

EBYOBUGAGGA EBITUNDIDDWA

• Amaka ag’ebbeeyi e Kololo ku Wampeewo nga waaliyo amayumba ga mirundi ebiri okuli eyali ku Plot 5 ne 6 nga gano gombi gaatundibwa.

• Ettaka lya yiika 20 e Munyonyo lyatwalibwa.

• Big Ways mu Ndeeba. Eno yatwalibwa abantu ba mirundi ebiri oluvannyuma lw’okusingibwa mu bamanerenda.

• Amayumba amalala ga mirundi ena okuliraana Plan B nga wano we wali n’amaka Kagimu mwasula nago ebyapa byago tebakyabirina nga byasingibwayo. Engeri kagi mu gye ya funamu obuyinza ku bintu Abaana b’omugenzi Ben Kiwanuka okuli; Regina Kiwanuka (abeera London), Musoke Kiwanuka, KagBano baasalawo okukuba akalulu ku Kagimu ne Musoke akalulu ne kawangulwa Kagimu n’atwala obuyinza kubintu.

Amaban ja ga Kagi mu Mu kiseera we baamulondera, Kagimu Kiwanuka yali asoma bwafaaza wabula bwe yamala okusika n’alagirwa Kalidinaali omugenzi Emannuel Nsubuga obuteeyongerayo kumaliriza kubanga yali ayolekedde obuvunaanyizibwa bw’okuzimba ekika kye. Mu kiseera kino yali talina kyakola kwe kuyingira ebyobufuzi mu kibiina kya DP, kitaawe kye yakulemberako.

Ebyobufuzi byamuleetera okutandika okwewola ssente engeri gye yali talina mulimu nga talina waggya ssente kwe kutandika okugenda nga yeewola ku bamanerenda. Ssente zaawera okutuuka bwe baatandika okutwala ebintu bye.

BEN KIWANUKA Y’ANI

Amannya ge mu bujjuvu ye Benedicto Kagimu Mugumba Kiwanuka

• Yazaalibwa mu 1922 ku kyalo Kisabwa, Bukomansimbi. Kitaawe yali munnaddiini omukuukuutivu nga naye yali ayitibwa Kiwanuka

• Yasoma amateeka mu Pius XII University College Basutoland mu Lesotho okuva 1950 okutuuka 1952.

• Yeenyigira mu ssematalo owookubiri ng’ali mu kibiina kya African Pioneer Corps ekyamuleetera okukolerako mu mawanga omwali Kenya, Misiri ne Palestine era olutalo we lwaggweera ng’atuuse ku ddaala ly’amagye erya Ssaajenti Meeja n’agawummula.

• Bwe yamala okusoma yakomawo mu Uganda n’atandika okukola nga munnamateeka eyeekozesa okuva 1956 okutuuka mu 1959.

• Mu kulwanirira okufuna obwetwaze mwe mwava okutandikawo kw’ekibiina kya Democratic Party (DP) era Kiwanuka n’afuuka Pulezidenti waakyo mu 1958. Olw’okuba omuyivu mu by’amateeka kyamwanguyiza okuyingira ebyobufuzi n’afuuka munnabyabufuzi ow’amaanyi.

• Mu kalulu akaasooka okukubwa mu 1961, waaliwo ebibiina by’obufuzi bibiri DP ne UPC era DP kyafuna ababaka abasinga obungi mu lukiiko lwa Legco. Kiwanuka yalonda Gavumenti eyasookera ddala nga July 1, 1961.

• Nga March 1, 1962 Kiwanuka yafuulibwa sKatikkiro wa Uganda eyasooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO