TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gakutte omuserikale omulala gwe balumiriza okutta Kaweesi

Amagye gakutte omuserikale omulala gwe balumiriza okutta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2018

AMAGYE gongedde okufunza abagambibwa okutta Andrew Felix Kaweesi. Abaserikale ba poliisi abalala babiri nga be bamu ku bataano abanoonyezebwa bazuuse gye bali.

United 703x422

Kitagenda ne Mbabazi

Bambega ba ISO baategeezezza Bukedde nti omuserikale Muhamood Matovu bamuzudde mu kibanda ekitunda emmotoka e Kawempe okumpi ne Growers wakati wa Bwaise ne poliisi y’e Kawempe.

Bino biddiridde okukwata omuserikale omulala Abel Kitagenda agambibwa nti ye n’abalala munaana beenyigira mu kutemula Kaweesi nga March 17, 2017 bwe yali yaakava ewuwe e Kulambiro.

Okusinziira ku byakazuulwa, okutta Kaweesi kwalimu abaserikale. Era bataano ku baserikale ababuulirizibwako baali bakola ne ofiisa wa poliisi Nixon Agasirwe kati ali mu kkomera oluvannyuma lw’okuvunaanibwa mu kkooti y’amagye.

Ali ku misango gy’okukwata abanoonyi b’obubudamu abaddukira mu Uganda okuva e Rwanda n’abaddiza Gavumenti ya Paul Kagame.

Matovu akolera mu kibanda ekitunda emmotoka e Bwaise ekigambibwa okuba ekya Nixon Agasirwe. Ono yali ku lusegere lwa Agasirwe era emirundi mingi nga y’amuvuga.

Matovu yayingira obuserikale mu kitongole kya Wembley ekyali kiduumirwa Elly Kayanja.

Matovu ne banne baatwalibwa mu kitongole kya VCCU (Violent Crime Crack Unit)ekyafuuka RRU e Kireka. Kino kye kyafuuka Flying Squad.

Matovu ne Kitagenda baali ba maanyi mu Flying Squad eyali eduumirwa Agasirwe kyokka Agasirwe bwe yaggyibwayo n’atwalibwa mu Special Operations Unit e Kololo, Agasirwe yagenda ne Matovu. Kyokka ensonda zaategeezezza nti Matovu okuyingira obuserikale yali ayoza mmotoka e Mulago.

Okufaanana mukama we Agasirwe, Matovu teyafuna kutendekebwa mu poliisi wadde nga baamuwa ennyota (amayinja) era olumu abadde aduumira ebikwekweto ebyenjawulo.

Ensonda zaategeezezza nti abaserikale abanoonyezebwa okubaako bye babuuzibwa ku bya Kaweesi kuliko Matovu, Ben Seruwu, Wilson Atekateka, Alex Katungi, Julius Kasunguza, Solomon Nuwaha.

Bonna abo ne Kitagenda badduka oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Agasirwe mu October 2017. Ensonda mu ISO zaategeezezza nti Matovu yabula n’emmundu ennene SMG ne pisito nga zirimu amasasi.

Kigambibwa nti Matovu yasigala addukanya ekibanda ky’emmotoka ekya Agasirwe bukya mukama we akwatibwa.

Bukya Kaweesi attibwa abantu ab’enjawulo bazze bakwatibwa, kyokka ng’abantu balowooza nti abakwatibwa si be batemu abatuufu.

Kyokka kati amaanyi ab’amagye okuli aba ISO ge batadde mu kufeffetta abatemu ne bazuula ng’olukwe lwalimu abaserikale ba poliisi, kyongedde okuleetawo essuubi.

Kaweesi yattibwa ne ddereeva we, Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau bonna awamu baakubwa amasasi 153.

Aba ISO bagamba nti bye baakazuula biraga ng’olukwe lwalimu muninkini wa Kaweesi ayitibwa Christine Mbabazi Muhoza.

Ono yasibirwa mu maka ge e Lungujja. Kigambibwa nti abatemu okuli abakulu mu poliisi baatuuza enkiiko nga muli boofiisa ba poliisi era baatunuulira pulogulaamu ya Kaweesi ya wiiki nnamba ne bateesa okumutta ng’ava e Ntebe ku Lwokuna nga March 16.

E Ntebe yaliko abantu b’agenda okusisinkana oluvannyuma alabagane ne Mbabazi eyalina okukolagana n’abatemu okukakasa Kaweesi waali.

Kyokka Kaweesi yakubira Mbabazi essimu ng’amutegeeza bwe batajja kusobola kusisinkana okuggyako enkeera ku Lwokutaano nga Kaweesi amaze okwogera eri abayizi ba Yunivasite y’e Mukono.

Kigambibwa nti ku Lwokuna baatuuza olukiiko ku Kati Kati ne bakola pulaani y’okumutta ng’ava ewuwe e Kulambiro.

Ku olwo abaserikale bonna abaddukanya poliisi mu kitundu ekyo baalagirwa okukeera ku poliisi ya Kira Road y’ensonga lwaki Kaweesi bwe yattibwa poliisi teyajja kudduukirira.

Kyokka tekinnategeerekeka oba abaserikale baasangibwa baayitibwa dda oba ng’abakulu kino baakikola lwa kwanguya bya kutta Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...