TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ochola azzeemu okukola enkyukakyuka mu Flying squad

Ochola azzeemu okukola enkyukakyuka mu Flying squad

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Ochola azzeemu okukola enkyukakyuka mu Flying squad

Ma1 703x422

Martin Okoth Ochola

OMUDUUMUZI wa poliisi, Martin Okoth Ochola akoze enkyukakyuka mu poliisi mw’alondedde aduumira ekitongole kya poliisi ekirwanyisa abazigu ekya Flying Squad, omugya. Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi ku Mmande nga June 4, 2018 nga kiriko omukono gw’avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu poliisi Hajji Moses Balimwoyo, Ochola yalonze D/SSP Peter Kakonge abadde akolera mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli n’amuzza mu kibaddemu Herbert Muhangi, akulire Flying Squad.

Ochola okulonda Kakonge kiddiridde okusattulula Flying Squad eyali ekulirwa Muhangi kati ali mu kitongole ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu poliisi nga y’atwala ofiisi evunaanyizibwa ku kubala abaserikale. Ochola mu kulonda Kakonge yamaze kutunuulira engeri gy’abadde akolamu emirimu gye n’ebitongole ebyenjawulo by’akoleddemu.

Kakonge yaliko mu kitongole kya Violent Crime Crack Unit (VCCU) ne Rapid Response Unit (RRU) ebyeyubula ne bifuuka Flying Squad. Kakonge yaweereddwa ebiragiro omuli okutereeza ekitongole kino.

Kakonge eyalondeddwa okuduumira Flying Squad yagambye nti ekitongole kino agenda kukitambuliza ku mitendera n’amateeka agalina okugobererwa okusobola okulaba ng’ebintu ebikyamu n’ebikolobero saako n’emisango abaserikale gye beenyigiramu giggwaawo.

Yagambye nti ebimu ku by’agenda okusinga okukolako kwe kulaba ng’akuuma ekitiibwa kya Flying Squad omuli okutangira abaserikale okwenyigira mu bikolobero omuli okutulugunya abantu kuba bye bimu ku bintu abantu bye beemulugunya ku kitongole kino. Yasuubizza okukolagana n’abantu baabulijjo okusobola okubafunamu amawulire aganaayamba okulwanyisa abazigu.

Mu baserikale abalala Ochola be yakyusizza kuliko D/ACP Isaac Oketcho eyaggyiddwa mu ofiisi evunaanyizibwa ku by’okulebula abantu mu mawulire n’ebyempuliziganya (Media Crimes) n’atwalibwa okukulira okunoonyereza ku misango egibuuka ensalo (Transnational Crimes) ku SID e Kireka.

D/SSP Peter Muwonge y’avunaanyizibwa okutendeka abaserikale abanoonyereza ku buzzi bw’emisango, D/SSP Hosea Manyindo y’avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango gy’amawulire n’ebyempuliziganya, D/SSP Okello Oburu yatwaliddwa okukuliramu okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu kya Kiira, D/SSP Sulaiman Kabuye yatwaliddwa okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu kya Rwenzori West ne D/SP Willy Kalimbano yaggyiddwa e Kiboga n’atwalibwa okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitongole ky’eggaali y’omukka.

Peter Kakonge y’ani? l Kakonge eyalondeddwa okuduumira Flying Squad yeegatta ku poliisi mu 1980 nga police Constable era nga yatendekebwako eby’ekinnamagye e Nakasongola.

l Akoledde mu bitongole bya poliisi ebyenjawulo omuli ekivunaanyizibwa ku guno naguli mu poliisi (General Duties), VCCU, RRU, ekitongole ky’ebidduka (Traffic), ekikkakkanya obujagalalo (Field Force Unit) nga kati abadde akolera mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango. l Okuva mu 1980, Kakonge abadde akuzibwa okutuuka ku madaala ag’enjawulo nga kati ali ku ddaala lya Senior Superintendent.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...