TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'okusaanyaawo amaka ga Ben Kiwanuka bisombodde abanene

Eby'okusaanyaawo amaka ga Ben Kiwanuka bisombodde abanene

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Eby'okusaanyaawo amaka ga Ben Kiwanuka bisombodde abanene

Luk1 703x422

Loodi meeya Lukwago nga yeetegereza eyali emmotoka ya Ben Kiwanuka.

PULEZIDENTI Museveni ayingidde mu nsonga z’ebintu bya Ben Kiwanuka ebitwalibwa olw’amabanja agazze galiibwa mutabani we Maurice Peter Kagimu eyali minisita okulaba engeri gye binunulwa.

Eggulo baminisita babiri okuli akola ku nsonga z’omunda, Gen. Jeje Odongo ne minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Suubi baagenze bukubirire e Nalukolongo ku Musigula awabadde amaka g’omugenzi Kiwanuka agaasendeddwa.

Baatuukidde mu nkuba ne balambula ekifo kyonna ekyabadde kifuuliddwa ekibangirizi nga toyinza wadde kulaba ku mategula oba amatoffaali agabadde ku nnyumba ebadde ggaggadde .

Baatunuulidde ettaka okwabadde ennyumba ne banyeenya emitwe. Bwe baavuddewo ne bagenda ku malaalo ga mukyala wa Ben Kiwanuka nago agaabadde gasigadde gokka mu bbanga ne beewuunya. Emiti egyabadde mu lugya nga gikuliridde , abaasenze amaka gyonna baagisazeemu enku ne bbuliti.

Oluvannyuma lw’okulambula, Gen Odong yategeezezza bannamawulire nti gavumenti teyasoose kuyingira mu nsonga zino kubanga yasoose kulowooza nti ettaka eryogerwako lya bwannannyini eri abaana ba Kiwanuka wabula oluvannyuma n’efuna amawulire nti ebintu ebitwalibwa bya mugenzi Ben Kiwanuka.

Yagambye nti bwe baategedde byonna ebyabaddewo, Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda n’alagira nti tujje ku ttaka tukakase ebyabaddewo byonna oluvannyuma mutwalire alipoota bagitunulemu .

Yannyonnyodde nti olw’obukulu bwa Ben Kiwanuka mu by’obufuzi bya Uganda, okuba nga yali musaale mu kuleeta enfuga ey’eddembe, Gavumenti tesobola kulekerera byafaayo bya Ben Kiwanuka kusaanawo era nti ekisoboka kigenda kukolebwa okukakasa nti ensonga zikwatibwako. Museveni w’agenze okuyingirira mu nsonga eno nga Bukedde eyongedde okuzuula ebipya nti n’ettaka erisangibwa ku Lubaga Road eririko obugazi obusoba mu yiika ennamba nalyo lyatwalibwa.

Mu kifo kino we wasangibwa ebbaala ya Plan B ng’ettaka lyawo lyatwalibwa omugagga Omar Sekamatte, ate awalala awaliraanyewo kuliko awaateekebwa ofiisi y’abanoonyi b’obubudamu n’awalala waateekebwawo ebbaala.

Eyagula ettaka okubadde Plan B, Omar Ssekamate yategeezezza nti okutegeera ku by’okutunda ettaka lino yakimanyira ku babbulooka abaalimutwalira nga bamugamba nti litundibwa. Yagambye nti olwokuba ettaka lyali walungi ate nga ddene, yalisiima era n’amusasula ssente obuwumbi bubiri mu mpeke. “nze sirina kye mubanja era naye talina ky’ammanja okugyako kye mpulira abalala bagamba nti bamubanja eby’obugagga byabwe tabasasula.

Kagimu ebintu abitunze abimazeewo. Ebyapa by’ettaka lya Ben Kiwanuka ebyenjawulo bingi biri mu babbulooka babitembeeya era ndowooza kati takyalina ttaka mu Lubaga.

ABALALA ababa nja kagimu Baminisita baabadde baakava okulambula awaasendeddwa ate omugagga omulala n’avaayo nti agenda kukwata Kagimu kubanga 6 Bukedde Lwakusatu June 6, 2018 amawulire azze atunda n’okulya amabanja ag’enjawulo kyokka nga tasasula. “Yatuguza ettaka mu Ndeeba naye tumwegayiridde atukwase ekifo kyaffe yagaana.

Bwe yagaana okulitukwasa ne tumulagira atuddize ssente zaffe naye endagaano zonna ze twakola okutusasula yagaana okuzituukiriza. Ekiseera kye yasuubiza kyaggwaako dda era oyo agenda kusibira Luzira tumuyigga,” Omugagga eyasabye amannya ge gasirikirwe bwe yagambye.

Yategeezezza nti yeeyama okubasasula ssente obukadde 50 buli mwezi ku ssente ezibalirirwa mu buwumbi naye byonna byamulema Ku Lwokutaano, bawannyondo ba kkooti baataala tulakita ne basenda ennyumba ya Ben Kiwanuka etudde ku ttaka erisoba mu yiika nnamba.

Buli ekyali ku ttaka baakisendawo okugyako amalaalo ga mukyala Ben Kiwanuka gokka ge baalekawo. Kasookedde bawannyondo bamulumba, Kagimu yasirika era akyagaanye okuvaamu ekigambo kyonna kubanga gye yeewola ssente, nabo baatunda nga kati eyagula yasenda atandike okukozesa ettaka lye.

LUKWAGO YEEYEMYE Wakati mu kusenda n’okusanyaawo buli kalonda wa byabugagga bya Ben Kiwanuka, loodi meeya Erias Lukwago abamu gwe baakazaako erya

MUTIMA GWA BEN KIWANUKA

mu byobufuzi ye yavuddeyo n’agenda okutaasa ebimu ku bintu naddala ebiwandiiko ssaako emmotoka Kiwanuka mweyatambuliranga.

Lukwago yategeezeazza nti agenda kukola ekisobola okulaba ng’ebyafaayo ku Ben Kiwanuka eyali omukulembeze ow’enjawulo mu myaka gye 1960 tebisaanawo. Yategeezezza nti waakiri anaasigaza ebimu ku biwandiiko oba emmotoka. Kigambibwa nti n’amaka ag’ebbeeyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Anyiize n’ayiira bba olweje

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’ayiira bba olweje. Bino byabadde Nansana Nsumbi zooni, Shamim Nakafu bwe...

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.