TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizuuliddwa ku mwana w'omugagga eyeetugidde mu kisenge byewuunyisa

Ebizuuliddwa ku mwana w'omugagga eyeetugidde mu kisenge byewuunyisa

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Ebizuuliddwa ku mwana w'omugagga eyeetugidde mu kisenge byewuunyisa

Jib2 703x422

Nakazibwe

EBIPYA ebizuuse ku muwala w’omugagga w’e Nalukolongo Hajji Hussein Makanga eyeetugidde mu kisenge kye mu kiro ekyakeesezza Mmande byewuunyisa.

Ebizuuliddwa biraga nti obuzibu bwavudde ku ssimu ya nnyina gye yabadde amubanja eyabadde emuwambiddwaako abasomesa oluvannyma lw’okugikukusa n’agiyingiza mu ssomero ekintu ekimennya amateeka g’essomero ku Lwomukaaga oluwedde.

Aisha Nakazibwe, 17, abadde asoma mu S3 ku St. Kizito SS e Kabowa yaziikiddwa e Butambala ku Mmande. Hajji Hussein Makanga taata w’omugenzi yategeezezza nti muwala we nga tenneeyimbamu muguwa yasoose kuwandiikira bakulira ssomero bbaluwa ng’abasaba ekisonyiwo olw’okumenya amateeka n’ayingiza essimu.

Agamba nti ebbaluwa zinozaazuuliddwa nnyina Joseline Ssanyu ne muto we mu kisenge ky’omugenzi nga yabadde azikukulidde mu bitabo bye nga kwabaddeko n’eriko akabonero k’essomero eyawandiikibwa omumyuka w’omukulu w’essomero nga June 2, ng’eyita bazadde be boogere ku nsonga z’omwana waabwe olw’okukwatibwa n’essimu.

Wabula yadde ebbaluwa eno yali ya bazadde, Nakazibwe teyagibawa nga mu bbaasa mwe yasangiddwa mwabaddemu n’endala nnya ze yabadde awandiise nga yeetondera abakulira essomero.

Okufa kwa Nakazibwe kwatabudde Hajji Makanga ne mukyala we Ssanyu era gye baggweeredde nga Ssanyu alumirizza bba okubeerako ky’amanyi ku nfa y’omwana. Eggulo oluvunnyuma lw’okuzuula ebbaluwa zino Ssanyu yeetondedde bba Hajji Makanga n’amusaba amufunire enju endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana