TOP

Omukugu awabudde Poliiisi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Omukugu awabudde Poliiisi

Kip2 703x422

EKIWAMBABANTU, ettemu n’obubbi ebicaase ensangi zino birese poliisi ng’erabibwa mu kifaananyi ekibi mu bantu beeweereza.

Richard Musaasizi (ku ddyo) akola ogw’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi y’e Bungereza awadde ebirina okukolebwa Poliisi okuzzaawo enkolagana ennungi mu bantu ba bulijjo baddemu okugyesiga.

Agamba nti Poliisi erina okussa essira ku pulogulaamu eziyamba okukuuma obulamu bw’abantu ng’erwanyisa obumenyi bw’amateeka okusinga okukola kampeyini z’okulungiya ekifaanaanyi kyayo mu bantu.

Balina okwekenneenya obuzzi bw’emisango obunene ng’ettemu, okuwamba abantu, n’obubbi. Mu mbeera eno erina okufuna abakugu okunoonyereza ekiyinza okukolebwa okubimalawo.

Poliisi erina okwongera ku mutindo gw’enkola y’emirimu gyayo n’okulaga obwangu mu by’okunoonyereza naddala nga waliwo ekiguddewo. Musaasizi yategeezezza nti Poliisi erlina okufaayo ng’ekola emirimu, okumanya obuyinza bwabwe we bukoma n’obwesigwa mu nkola y’emirimu gyabwe. Erina okulongoosa enkolagana yaayo n’omuntu wa bulijjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.