TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga batandise okulambula Budaaki

Abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga batandise okulambula Budaaki

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga batandise okulambula BudaakiJudith

Lop2 703x422

ABAWANGUZI b’empaka z’omulimi asinga 11, batuuse bulungi mu ggwanga lya Budaaki ne batandikirawo okulambula ebifo omukolerwa bizinensi okubalaga amakubo ne bizinensi ze basobola okwenyigiramu.

Bano abaatambulidde mu nnyonyi ya KLM, abamu ku bassa ssente mu mpaka zino, olwatuuse ku Ssande, balambuziddwa omwalo gwa Rotterdam ogusinga obunene mu Bulaaya. Mu 2017, kwayitako ttani z’ebyamaguzi obukadde 461.

Abawanguzi okuli; Isaac Malinga, Julius Bigabwa, Tom Anyii, Justine Didi Omeke, Patrick Bakumpe Makanga, Robert Ociti, Racheal Amol, Timothy Jokkene, Margaret Mbaga, Celia Kansiime ne Jacob Kazindula baawerekeddwaako akulira Vision Group etwala ne Bukedde Robert Kabushenga.

Abawanguzi balabirirwa gavumenti ya Budaaki okuyita mu kitebe kyayo mu Uganda era nga baakulambula abalimi n’abalunzi ab’amaanyi mu Budaaki, kkampuni ezikola eddagala, emmere, okwaluza enkoko, ezizaaza ensolo ng’ente n’embuzi, n’ebifo by’obusuubuzi n’obulambuzi.

Abalala abassa ssente mu mpaka zino kuliko bbanka ya DFCU ne kkampuni ya Koudjis abakola emmere y’enkoko n’ensolo.

Julius Bigabwa omuwanguzi okuva e Fort portal yeewuunyizza engeri Abazungu gye bakuuma n’okusigala nga bazimba ebintu byabwe kye yagambye nti kusoomoozebwa kw maanyi Bannayuganda kwe balina okulabirako okulaba nga basobola okusigala nga ba maanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...