TOP

Okulima ebimuli n’emiti nkuzimbyemu ennyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Okulima ebimuli n’emiti nkuzimbyemu ennyumba

Lab2 703x422

BWE nava mu ssomero mu 2009 nga ssente zibuze nalowooza nti obwange bukomye! Wabula omulimu gw’okulima ebimuli n’emiti guntadde we nali sisuubira.” Joy Mugambe 27, omutuuze w’e Namagoma mu Wakiso bw’atandika emboozi ye.

Mugambe amaze emyaka musanvu ng’alima ebimuli n’emiti egisimbibwa mu mpya z’abantu. Omulimu guno agukolera Nsambya ku luguudo lwa Mukwano.

OKUTANDIKA Mu 2009, natandika okukola emirimu gya lejjalejja mu kyalo e Masaka, wabula nga tebitambula. Nalina mukulu wange eyali akola omulimu guno e Kampala era ye yanzigya mu kyalo n’andeeta nga omukozi.

Nga wayise omwaka gumu, namusaba n’ampa akatundu ku ttaka we yali akolera ne ntandika okumerezaawo endokwa ezange. Natandika n’endokwa 5,000/- era ku zino mukwano gwange yanzigyako endokwa 500 ng’ansuubizza okuzitunda ampe ssente, wabula n’atansasula.

Endokwa ezaasigalawo nazitunda ne nfunamu 40,000/-. Engeri gye nasulanga ewa mukulu wange nga n’emmere ya bwereere kyannyamba buli ssente ze nafunanga okuzizza mu bizinensi yange.

Ssente zonna nazizza mu bizinensi eno ne nkola endokwa eziwerako. Wabula sizoni yali ya musana era nalwana ne nfukirira Mu ntandikwa nakolanga endokwa za layisi nga nzitunda wakati wa 500/- ne 1,000/-.

Nagenda ngaziwa mpola ne ntandika okusuubula emiti egy’ebbeeyi. Natandika n’emiti nga 10 nga ngisuubula 5,000/- buli gumu. Nagenda ngaziwa mpola okutuusa bwe natuuka mu miti 300 n’okusingawo.

ENDOKWA

Ebimuli n’emiti bingi nnyo tosobola kubimalayo. Okufuna endokwa kisinziira ku kika ky’omuti oba ekimuli ky’oyagala era birimu ebika nga bisatu; Eby’ensigo. Waliwo ebimuli n’emiti nga tukozesa nsigo zaabyo okumeza endokwa.

Mu bino mulimu emiti gy’ebisansa, emiti egiwa ekisiikirize mu luggya n’emirala. Ensigo tuziteeka mu nassale okumala emyezi ng’ena. Bwe zimala okuloka nga tuziggyayo tuziteeka mu buveera ne tuziteeka mu kifo ekigazi we zisobola okwetaayiza obulungi. Bye tusala ku miti (cutting).

Tulinawo ebika by’ebimuli n’emiti ng’okufuna endokwa tumala kusala ku muti oba ekimuliekikulu ekibaawo. Bwe tuba tusala twegendereza awali ennyingo evaako omutunsi ne tusala waggulu waayo ne wansi waayo ne tukasimba mu kaveera omuli ettaka. Tulinawo ebika by’emiti ng’ensigo ziva bweru.

Waliwo abazisuubula mu bungi okuva e Kenya ne Tanzania ne bazireeta naffe ne tuzibagulako ne tuzirabirira bulungi okutuusa bwe tugitunda. Buli muti tugusuubula wakati w’e 5,000/- ne 15,000/- okusinziira ku kika. Gino mulimu Ashoke, Azaria, Alkeria n’emirala.

ENDABIRIRA

Ebimuli biringa mwana, byetaaga okulabirira obulungi okusobola okubifunamu. Byagala nnyo amazzi era okufukirira gwe mulimu omukulu naddala mu biseera by’omusana. Ebimuli era tebikolagana na muddo okusobola okuvaamu obulungi. Olina okubirambula buli kiseera okusobola okuggyamu omuddo.

Ebimuli byetaaga okusengeka obulungi buli kika nga kiri mu kitundu kyakyo. Kino kiri bwe kiti kubanga ebiseera ebisinga ebika by’ebimuli ebimu tebisobola kuganya birala kukula bulungi.

Ate kiyamba n’ennimiro okulabika obulungi n’okwanguyirwa mu kiseera ky’okutunda. Ebimuli ebimu tubifuuyira nga bikyali bito kubanga bitawaanyizibwa nnyo obusaanyi obulya ebikoola.

Bwe tuba tumeza endokwa tukozesa ettaka eriddugavu kubanga lye libaamu obugimu n’ebirungo ebiyamba ekimuli okumera obulungi mu mbeera eyeeyagaza.

EBISOOMOOZA

Omulimu guno nagwo gulina ebintu ebigusoomooza.

Mu biseera by’omusana ebimuli byetaaga okulabirira ennyo ate nga n’abantu ababigula baba batono. Ekirala, tetulina bifo bya nkalakkalira mwe tukolera, tubeera mu ddukadduka.

Bakasitooma baffe abasinga tebamanyi maanyi na budde bwe tuteekamu nga tukola omulimu guno. Baagala okutufootola nga batuwa ssente ntono.

Baagala okutwala ebimuli ebikulu ebitatawaanya kulabirira naye ate nga si beetegefu kusasula ssente zibigyamu. Bannafe abamu be tukola nabo batwewolako ebimuli nga bafunye awali akatale ne batasasula.

SSENTE EZIVA MU BIMULI

Bbeeyi y’ekimuli esinziira ku kika n’obukulu bw’akyo. Tubitunda okuva ku 200/- okudda waggulu. Ebimuli bye tusuubula era tubitundira ku bbeeyi.

Kye tusuubula 5,000/- tukitunda 40,000/- ne 50,000/- ate bwe kiba kikuze tukitunda 100,000/- ne 150,000/-. Omulimu guno okuguyimirizaawo weetaaga ekifo ekirungi nga kiri ku kkubo abantu we bayita okusobola okulaba by’otunda. Ebifo ebisinga biba bya kupangisibwa.

Nze we nkolera nsasula wakati 100,000/- ne 150,000/- buli nassale buli mwezi. Omuntu okusobola okuyimirizaawo omulimu guno asaana okuyiga ebintu ebirala ng’okukola n’okuyooyoota empya z’abantu, Kino kiyamba okwongeza ku ssente z’ofuna nga tokoma kutunda bimuli kwokka.

Ebimuli n’emiti nsinga kubiguza abantu ssekinnoomu, amasomero n’abebizimbe abaagala okusimba.

ABAKOZI

Nkozesa abakozi babiri ab’enkalakkalira abannyambako naddala mu kufukirira, okuteeka endokwa mu buveera n’okutunda ebimuli n’emiti.

Ate bwemba nfunye omulimu gw’okukola oluggya nkozesa abakozi bana.

BYE NFUNYEEMU

Omulimu guno gunsobozesezza okwezimbirawo ennyumba mwe nsula. Omulimu guno era gumbeezaawo ate ne nnyamba n’abalala omuli bato bange. Nsobodde okufuna emikwano egy’obuvunaanyizibwa ekinnyambye okunzigula obwongo n’okukyusa endowooza yange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muntu703422 220x290

Aba FDC beesoma kugangavvula Muntu...

AKAKIIKO ka FDC akakwasiza empisa kagenda kutuula okusalawo kye bagenda okukolera abakungu b’ekibiina okuli eyali...

Paka 220x290

Paasita gwe yafeze emitwalo 40...

Paasita gwe yafeze emitwalo 40 e Kyebando alaajana

Gaga 220x290

Omugagga akoonye amayumba g'abatuuze...

ABANTU abasoba mu kkumi ku kyalo Namakofu mu muluka gw’e Bubuubi e Bamunaanika mu Luweero tebakyalina we basula...

Amakagabasiime 220x290

Abadde yaakawasa omugole ow'olunaku...

OMUSAJJA abadde yaakawasa omugole ow’olunaku olumu attiddwa mu bukambwe ne bamuggyamu ekibumba ne bakissa ku mabbali...

Laba 220x290

Afumise muganzi ze ekiso ng’abaana...

Abatuuze b’e Ssenyange mu ggombolola ya Nyendo - Ssenyange e Masaka baguddemu entiisa omuvubuka bwafumise muganzi...