TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto w'empirinvuma gy'alwanyisaamu ebizimba mu bakyala

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto w'empirinvuma gy'alwanyisaamu ebizimba mu bakyala

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto w'empirinvuma gy'alwanyisaamu ebizimba mu bakyala

Pi1 703x422

Nyanzi (owookusatu okuva ku kkono) ng’annyonnyola abantu ebikwata ku butto w’empirivuma.

EMPIRIVUMA ziva ku kisansa okuva ensansa eziruka emikeeka ne ze bakozesa okunyeenya amatabi (abamu bakiyita olukindukindu). Wabula omuti guno bwe gukula guteekako ebibala ebiyitibwa empirivuma. Olw’obugumu bw’omuti guno kwe baggya n’erinnya lya Kabaka erya Lukomwa Nnantawetwa, kubanga enkoma nazo ziva okwo.

Ensigo z’empirivuma ze zimu ku nsigo ezikyasinze okukaluba era omuti kwe ziva gumala ebbanga erisoba mu myaka 50 nga gusika eminnyo mu ttaka ne gugiyingiza mu nsigo zino. Enkima n’ebisodde birya ensigo zino ne bitalumbibwa ndwadde.

Tezirina bulabe ku muntu, era tuzirya naye engeri gye tuzitegekamu si ntuufu. Abamu basooka kuzisiikako ate ekitta ebirungo ebirimu, osaanye kuzirya nga mbisi naye zikaluba awo ffe aba Pro Biorearch tukwanguyirizza ne tukamulamu butto.

Era butto akamuddwaamu ayamba bino; lOkwongera omutima amaanyi n’okugumya ebinywa ne nnabaana, era kyova olaba edda abakyala nga bali lubuto nga bazirya ne basobola obutazaalira ku biso. N’olumu nga bazaalira waka ku kitooke.

Egumya amagumba, omuntu n’atambula olugendo oluwanvu naye nga takooye era bw’otunuulira Abasenegal abazirya ennyo baba bagumu ate nga balina amaanyi.

Tunuulira ku bazannyi b’omupiira abavaayo.

Ezibukula enseke z’abakyala kuba erimu ekirungo kya ‘Nicotinic acid’ ekizibukula enseke z’abakyala amagi ne gasembera omukyala ne kimwanguyira okufuna olubuto.

Eyamba ku bakyala abali mu nsonga obutalumizibwa, bano bakozesa butto waayo. lNnungi ku bantu abalina enkwaso ennafu, naddala ssinga omukozesa ng’omugasse wamu ne butto ava mu biryo by’ensujju.

Ziyamba abaana abasoma kuba butto alimu vitamiini B6 ayamba omuntu okulowooza n’okukwata amangu.

 Butto ayamba okukkakkanya ku alusa.

Ayamba ku binyama ebikwata mu nnyindo naddala mu baana ne baba nga baziyira olumu kibaviirako okufa.

Ebizimba mu nnabaana kuba etereeza obusimo bw’omubiri n’otafuna bizimba.

Abantu abeerabira ennyo naddala abakadde, butto abayamba okuba nga tokyerabiralabira.

Akola yugati, oddira butto w’empirivuma n’omugatta mu yugati n’okola yugati azzaamu amaanyi ate nga wa butonde.

Empirivuma ezzaamu amaanyi g’ekisajja n’okuwangaalira mu kisaawe.

Eyamba ku bantu abalina obulwadde bw’abazira ssinga onywa akajiiko kamu ku mazzi agabuguma.

Abaana abatera okulumbibwa endwadde ebayamba okuzirwanyisa. Ekibi empirivuma bagitemye naye kye kiseera okutandika okugisimba. Bw’oba onywa oteeka akajiiko kamu mu mazzi agabuguma. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfiira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...