TOP

Ono omuyimbi akola n’ogw’obutembeeyi!

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

Ono omuyimbi akola n’ogw’obutembeeyi!

Feb2 703x422

OMUYIMBI w’ennyimba z’eddiini, Isaac Mwesigwa ow’e Kyanja naye nno atobye n’ensi. Ennaku zino takyatuula asula n’okusiiba ng’anoonya mmane.

Alabye omuziki gwe gugaanyi okukwatayo obulungi ng’ate yakkiriza nti teri ssente za ku mukeeka ng’olina kusooka kuzikolerera, kwe kutandika okutembeeya obutambi bwe. Wiiki ewedde twamuguddeko mu kibuga ng’agenda agabira abantu abatunda obutambi bw’ennyimba (CD) abamu kye baayise okuzitembeeya.

Bwe yavudde mu bitundu ebyetoolodde paaka ya takisi n’ayingira mu kizimbe kya Majesitic n’alinnya waggulu era yamazeeyo akaseera ng’annyonnyola abantu ku nnyimba ze. Yategeezezza nti ye eby’okwewanika yabivaako nga kati yeekwatiramu okutambuza omuziki gwe era takirabamu sitaani yenna.

Mwesigwa ye yayimba ennyimba nga Yesu wange, Kyendi kyendi, Asante, Tambula nange n’endala nnyingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi